1
Okubala 13:30
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Kalebu n'asirisa abantu mu maaso ga Musa, n'agamba nti, “Twambuke mangu ago, tugirye; kubanga tuyinziza ddala okugiwangula.”
Compare
Explore Okubala 13:30
2
Okubala 13:33
Era twalabayo Abanefiri, bazzukulu ba Anaki. Tweraba nga tuli basirikitu ng'obwacaaka, era nabo bwe batyo bwe baatulaba.”
Explore Okubala 13:33
3
Okubala 13:31
Naye abantu abaayambukira awamu naye ne bagamba nti, “Tetuyinza kwaŋŋaanga bantu abo kubanga batusinza nnyo amaanyi.”
Explore Okubala 13:31
4
Okubala 13:32
Ne basaasaanya mu Baana ba Isiraeri amawulire amabi ag'obulimba agafa ku nsi gye baali bakesse, ne bagamba nti, “ Ensi gye twagenda okuketta, nsi nkalu, etebaza mmere eyinza okumala abantu abagituulamu, n'abantu bonna be twalabayo baali bawagguufu.
Explore Okubala 13:32
5
Okubala 13:27
Ne bababuulira nti, “Twatuuka mu nsi gye watutuma, era mazima ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bino bye bibala byayo.
Explore Okubala 13:27
6
Okubala 13:28
Naye abantu abatuula mu nsi eyo ba maanyi, n'ebibuga byabwe biriko enkomera, binene nnyo: era twalabayo n'abaana ba Anaki.
Explore Okubala 13:28
7
Okubala 13:29
Abamaleki batuula mu nsi ey'obukkiikkaddyo, Abakiiti, Abayebusi, Abamoli, batuula ku nsozi: n'Abakanani batuula kumpi n'ennyanja, ku lubalama lwa Yoludaani.”
Explore Okubala 13:29
8
Okubala 13:26
Ne bakomawo eri Musa ne Alooni n'eri ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ekyali mu ddungu lye Palani, e Kadesi; ne bababuulira byonna bye baalaba, ne babalaga n'ebibala by'ensi.
Explore Okubala 13:26