YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 14

14
Abantu beemulugunya nate
1Awo ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba nnyo amaziga ekiro ekyo. 2Ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y'e Misiri, oba singa twafiira mu ddungu muno!#Zab 106:25, 1 Kol 10:10 3Era Mukama atuleetera ki mu nsi muno, okugwa n'ekitala? Bakazi baffe n'abaana baffe abato baliba munyago; si kye kisinga obulungi gyetuli okuddayo mu Misiri?” 4Ne bagambagana nti, “Twerondere omukulembeze,” tuddeyo e Misiri.#Ma 17:16 5Awo Musa ne Alooni ne bavuunamira ddala ku ttaka mu maaso g'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri. 6Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali ku muwendo gw'abo abaaketta ensi, ne bayuza engoye zaabwe; 7ne babuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nga boogera nti, “Ensi gye twayitamu okugiketta nsi nnungi nnyo. 8Oba nga Mukama atusiima alituyingiza mu nsi omwo, n'agituwa; ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.#Kubal 13:27, Ma 10:15 9Kyokka temujeemera Mukama, so temutya bantu ba mu nsi; kubanga kya kulya gyetuli. Mukama abavuddemu, ali wamu naffe, temubatya.”#Lub 48:21, Ma 9:7,23,24; 20:1,3,4, Zab 14:4 10Naye ekibiina kyonna ne kyagala okubakuba amayinja. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu Weema ey'okusisinkanirangamu eri abaana ba Isiraeri bonna.#Kuv 17:4, Leev 9:23
Musa asabira abantu
11Mukama n'agamba Musa nti, “Abantu bano balituusa wa okunnyooma? Era balituusa wa obutanzikiriza olw'eby'amagero byonna bye nnakolera mu bo?#Zab 78:22,32; 106:24, Yok 12:37 12Nja kubakuba ne kawumpuli, mbaggyeeko n'obusika bwabwe, naye ggwe nkuggyemu eggwanga eribasinga bo obunene n'amaanyi.”#Kuv 32:10 13Naye Musa n'agamba Mukama nti, “ Ggwe waggya abantu bano e Misiri, ng'okozesa obuyinza bwo. Abamisiri bwe baliwulira ky'okoze abantu bo,#Kuv 32:12, Ez 20:9 14balikibuulira abantu ababeera mu nsi eno. Sso nga bano baamala dda okuwulira nga Ggwe, ayi Mukama, oli wamu n'abantu bano, era nti obalabikira mu lwatu, ekire kyo bwe kiyimirira waggulu ku bo, era ng'obakulembera mu mpagi ey'ekire emisana, ne mu mpagi ey'omuliro ekiro.#Kuv 13:21; 15:14 15Kale bw'onotta abantu bano bonna ekirindi, amawanga agaawulira ettutumu lyo balyogera 16nti, ‘Mukama yalemererwa okuyingiza bantu bano mu nsi gye yabalayirira, kyeyava abattira mu ddungu.’#Ma 9:28 17Kale kaakano, nkwegayiridde ayi Mukama, laga obuyinza bwo obungi okole kye wasuubiza bwe wagamba nti, 18‘Nze Mukama, ndwawo okusunguwala, nnina okwagala kungi, nsonyiwa ebibi n'obujeemu, naye sirema kubonereza muntu olw'omusango gw'azzizza. Era mbonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku mulembe ogwokusatu n'ogwokuna olw'ebibi bya bajjajjaabwe.’#Kuv 34:6,7 19Nkwegayiridde sonyiwa, obutali butuukirivu bw'abantu bano ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, era nga bwe wasonyiwanga abantu bano okuva mu Misiri okutuusa leero.” 20Mukama n'agamba nti, “Nsonyiye ng'ekigambo kyo bwe kibadde. 21Naye mazima ddala, nga bwe ndi omulamu, era ng'ensi zonna bwe zirijjula ekitiibwa kya Mukama; 22abasajja bano bonna abaalaba ekitiibwa kyange n'eby'amagero byange bye nnakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne banjeemera emirundi gino ekkumi (10), ne batawulira ddoboozi lyange; 23mazima tewaliba n'omu ku abo abannyooma, aliraba ensi gye nnalayirira bajjajjaabwe. 24Naye omuddu wange Kalebu, kubanga ye alina omwoyo omulala mu ye, era ye angobererera ddala, oyo ndimutuusa mu nsi gye yagendamu okuketta; n'ezzadde lye lirigirya. 25Kale Omwamaleki n'Omukanani nga bwe batuula mu kiwonvu; enkya mukyuke, mugende mu ddungu mu kkubo eriyita ku Nnyanja Emmyufu.”
Mukama abonereza abantu olw'okwemulugunya
26Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, 27“Ndituusa wa okugumiikiriza ekibiina kino ekibi, abanneemulugunyiza? Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri kwe banneemulugunyiza. 28Bagambe nti, Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, mazima nga bwe mwogedde, mpulidde, era bwe ntyo bwe nnaabakola: 29emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno; n'abo bonna abaabalibwa ku mmwe, ng'omuwendo gwammwe gwonna bwe gwali, abaali bawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, abanneemulugunyiza, 30mazima temulituuka mu nsi, gye nnabalayirira okubatuuzamu, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 31Naye abaana bammwe abato, be mugambye okuba omunyago, abo bo ndibayingiza, mu nsi gye mugaanyi, ne batuula omwo. 32Naye mmwe, emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno. 33N'abaana bammwe balibungeetera mu ddungu emyaka ana (40), nga babonaabona olw'obutali bwesigwa bwammwe, okutuusa lwe mulifiira mu ddungu ne muggwaawo.#Kubal 32:13 34Ng'omuwendo gw'ennaku bwe gwali ze mwaketteramu ensi, ze nnaku ana (40), buli lunaku ndufudde mwaka, bwe munaabangako bwe mutyo obutali butuukirivu bwammwe, okumala myaka ana (40), era mulijjukira bye n'abagamba.#Kubal 13:25, Zab 95:10, Ez 4:6 35Nze Mukama njogedde, mazima ndikola bwentyo ekibiina kino kyonna ekibi, ekinkuŋŋaaniddeko okunjeemera. Mu ddungu muno mwe balizikiririra, era mwe balifiira.”#Kubal 23:19 36Abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo abaakomawo ne bagyogerako ebigambo ebibi eby'obulimba ebyaleetera ekibiina kyonna okwemulugunyiza Mukama,#Kubal 13:31 37abantu abo abaayogera ebigambo ebibi eby'obulimba ku nsi eyo, ne bafa kawumpuli mu maaso ga Mukama.#1 Kol 10:5,10, Yud 5 38Naye Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune ne basigalawo nga balamu ku bantu abo abaagenda okuketta ensi.#Kubal 26:65
39Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri bonna ebigambo ebyo; abantu ne banyolwa nnyo.#Kuv 33:4 40Ne bagolokoka enkya ku makya, ne bagenda ku ntikko y'olusozi nga boogera nti, “Laba, tutuuno, era tunaayambuka mu kifo Mukama kye yasuubiza; kubanga twayonoona.”#Ma 1:41 41Musa n'agamba nti, “Kaakano musobeza ki ekiragiro kya Mukama? Temujja kuwangula.#2 Byom 24:20, Yob 9:4 42Temwambuka, kubanga Mukama tali nammwe; abalabe bammwe bajja kubawangula;#Ma 1:42 43kubanga Omwamaleki n'Omukanani bali mu maaso gammwe, era munaagwa n'ekitala: kubanga mwajeema; Mukama kyanaava alema okubeera nammwe.” 44Naye ne beeyinula okulinnya ku ntikko y'olusozi; naye essanduuko ey'endagaano ya Mukama teyava mu lusiisira, wadde Musa.#Ma 1:43 45Awo Omwamaleki n'aserengeta, n'Omukanani eyatuula ku lusozi okwo, ne babakuba ne babaseera ddala okutuusa e Koluma.

Currently Selected:

Okubala 14: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in