YouVersion Logo
Search Icon

Mikka 6

6
Katonda alabula era azzaawo abantu be
(6:1—7:20)
Mukama Alumiriza Isiraeri
1Kale muwulire ebyo Mukama by'ayogera nti, “Yimuka, woza ensonga zo mu maaso g'ensozi; obusozi buwulire eddoboozi lyo. 2Muwulire, mmwe ensozi, obutategeragana obuliwo ne Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera, kubanga Mukama alina obutategeragana n'abantu be, era aliwoza ne Isiraeri.”#Ez 36:4, Kos 4:1 3“Mmwe abantu bange, mbakoze ki? Nali mbakooyezza naki? Munziremu!#Is 43:22,23, Yer 2:5, Mal 1:13 4Kubanga nnakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne ntuma Musa ne Alooni ne Miryamu, okubakulembera.#Kuv 12:51; 15:20 5Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama.”#Kubal 22:5; 25:1, Yos 4:19, Balam 11:25
Mukama bye Yalagira
6“Najja naki eri Mukama, ne nvuunama mu maaso ga Katonda asinga byonna? Mmusemberere n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ennyana ezaakamala omwaka ogumu?#Is 57:15, Kos 5:6, Beb 10:4 7Mukama alisiima endiga eza sseddume enkumi, oba amafuta agakulukuta ng'emigga? Mpeeyo omwana wange omubereberye olw'okwonoona kwange, oba mpeeyo ekibala ky'omubiri gwange olw'ekibi eky'omu mmeeme yange?”#Leev 18:21, 1 Sam 15:22 8Akubuulidde, ggwe omuntu, ekirungi bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukolanga eby'obwenkanya, n'okwagalanga, n'ekisa, era n'okutambula n'obuwombeefu ne Katonda wo?#Lub 5:22, Ma 10:12
Okuzikiriza Ababi
9Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, era kya magezi agatuukiridde okutya erinnya lyo, “Wulira ggwe ekika era abali awamu ab'ekibuga!”#Is 10:5 10Nnyinza okwerabira ebintu eby'omuwendo eby'obubi, ebikyali mu nnyumba y'omubi, n'ekigera ekitatuuka eky'omuzizo? 11Nnyinza ntya okusonyiwa omuntu akozesa minzaani ey'obubi, n'ensawo erimu ebipima eby'obulimba?#Is 17:9, Kos 8:14 12Abagagga baakyo bakambwe, n'abo ababeera mu kyo boogedde eby'obulimba, n'olulimi lwabwe lwa bulimba mu kamwa kaabwe.#Yer 9:8, Am 3:10 13Nange kyenvudde nkufumita ekiwundu ekinene; era nkuzisizza olw'ebibi byo. 14Olirya, so tolikkuta; era olisigala okyalumwa enjala; olijjulula naye tolitwala mirembe, era kyolitwala ndikiwaayo eri ekitala.#Kos 4:10 15Olisiga, naye tolikungula; olisogola emizeyituuni, naye tolisaaba mafuta; era olisogola emizabbibu, naye tolinywa ku mwenge.#Ma 28:38-40, Zef 1:13 16Kubanga mukuumye ebyalagirwa Omuli, era n'ebikolwa byonna eby'omu nnyumba ya Akabu; nammwe mutambulira mu kuteesa kwabwe; ndyoke nkufuule ekifulukwa, n'abo ababeera mu kyo, mulibeera eky'okuduulirwa; nammwe mulibeerako ebivume by'abantu bange.#1 Bassek 16:25-33, 2 Byom 29:8

Currently Selected:

Mikka 6: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in