Mikka 7
7
Empisa z'Abaisiraeri Zoonooneka
1Zinsanze! Kubanga nfaanana nga bwe bamala okukuŋŋaanya ebibala eby'omu kyeya, ng'ezabbibu ezeerebwa mu lusuku, tewakyali kirimba eky'okulya; tewali ttiini eryengedde emmeeme yange lye yeegomba.#Is 24:13, Kos 9:10 2Omwegendereza abuze mu nsi, so tewali mugolokofu mu bantu; bonna bateega, okuyiwa omusaayi, buli muntu ayigga muganda we n'ekitimba.#Zab 10:9; 12:1; 14:1,3, Is 9:19 3Emikono gyabwe ginyikira okukola obubi. Omulangira n'omulamuzi baagala okuweebwa enguzi; n'omukulu ayogera ekibi ekibeera mu meeme ye, bwe batyo bwe babirukira awamu.#Zab 82:1,2, Mi 3:11, Zef 3:7 4Asinga obulungi ku bo, afaanana ng'omweramannyo, asinga okuba omugolokofu ku bo lukomera olw'amaggwa, olunaku olw'abakuumi baabwe, olw'okubonerezebwako lutuuse, kaakano okutabukatabuka kwabwe kutuuse.#Is 22:5, Ez 2:6; 33:2, Nak 1:10 5Temwesiga muliraanwa wammwe, tobeera na bwesige eri ow'omukwano; kuuma enzigi z'akamwa ko eri oyo agalamira mu kifuba kyo.#Yer 9:4 6Kubanga omwana ow'obulenzi tassaamu kitiibwa kitaawe, omuwala akikinalira ku nnyina, muka mwana ku nnyazaala we; abalabe b'omuntu baba ba mu nnyumba ye.#Mat 10:21,35,36
Mukama ye Mulokozi
7Naye nze nnaatunuuliranga Mukama; nnaalindiriranga Katonda ow'obulokozi bwange; Katonda wange anaampuliranga.#Kung 3:26 8Tosanyuka ggwe omulabe wange; bwe ngwa, naayimuka; bwe ntuula mu kizikiza, Mukama anaaba musana gye ndi.#Zab 37:24; 112:4, Yer 50:11 9Naagumiikirizanga obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde; okutuusa lw'aliwoza ensonga yange, era lw'alinsalira omusango, alindeeta eri omusana, era ndiraba ku butuukirivu bwe.#1 Sam 24:15, Zab 37:6, Yer 10:19 10Kale omulabe wange, alikiraba, alikwatibwa ensonyi; eyaŋŋamba nti, “Mukama Katonda wo ali ludda wa?” Amaaso gange galimulabako, kaakano alirinnyirirwa ng'ebitoomi eby'omu nguudo.#Zab 18:42, Yo 2:17, Mi 4:11 11Olunaku olw'okuzimba ebisenge byo! Ku lunaku olwo, ensalo zo zirigaziyizibwa.#Am 9:11,14 12Ku lunaku luli, baliva mu Bwasuli okutuuka e Misiri, era baliva e Misiri okutuuka ku Mugga, okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi.#Is 11:11,16, Zek 9:10 13Naye ensi eriba kifulukwa, ku lw'abo abagibeeramu, olw'ebibala eby'ebikolwa byabwe.#Mi 6:13
Mukama Akwatirwa Isiraeri Ekisa
14Liisa abantu bo, n'omuggo gwo, ekisibo eky'obutaka bwo, ababeera bokka, mu kibira wakati wa Kalumeeri, baliire mu Basani ne mu Gireyaadi nga mu nnaku ez'edda.#Zab 23:4; 28:9, Yer 50:9, Mi 5:4 15Nga bwe nnakola mu nnaku bwe wava mu nsi ya Misiri, ndimwolesa eby'ekitalo.#Zab 78:12 16Amawanga galiraba, galikwatibwa ensonyi n'amaanyi gaabwe gonna, baliteeka engalo zaabwe ku kamwa kaabwe, era amatu gaabwe galiziba.#Balam 18:19, Is 26:11 17Balikomba enfuufu ng'omusota; ng'ebyekulula eby'ensi baliva mu bwekwekero bwabwe nga bakankana, mu kutya balikyukira Mukama Katonda waffe, era balitekemuka ku lulwo.#Zab 18:45; 72:9, Is 49:23 18Ani Katonda nga ggwe asonyiwa obubi, n'ayita ku kwonoona okw'abasigalawo ab'obutaka bwe? Talemera mu busungu bwe emirembe gyonna kubanga asanyukira okwagala okwanamaddala.#Kuv 34:6,7, Zab 103:9 19Alikyuka alitusaasira; alirinyirira okwonoona kwaffe n'ekigere; era olisuula ebibi byaffe byonna mu buziba bw'ennyanja.#Zab 80:14, Is 38:17, Bar 6:14 20Oliraga Yakobo obwesigwa, n'okwagala okwanamaddala eri Ibulayimu, nga bwe walayirira bajjajjaffe okuva mu nnaku ez'edda.#Zab 105:9,10, Luk 1:72,73
Currently Selected:
Mikka 7: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.