Mikka 2
2
Ababonyaabonya abaavu
1Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku buliri bwabwe! Obudde bwe bukya bongera okubukola, kubanga obuyinza obw'okubukola buli mu mikono gyabwe.#Zab 36:4 2N'abo beegomba ennimiro, ne bazinyaga; era ennyumba, ne bazitwala; era bajooga omusajja n'ennyumba ye, era omuntu n'obusika bwe.#Is 5:8 3Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, nteesa akabi ku kika kino, ke mutaliggya mu bulago bwammwe, so temulitambuza malala; kubanga ebiro ebyo biriba bibi.#Yer 8:3, Am 3:1,2; 5:13 4Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw'abantu bange, ng'agunzigyako! Agabira abajeemu ennimiro zaffe.#Kaab 2:6 5Kyoliva olema okubeera n'omuntu alisuula omuguwa ng'akuba akalulu, mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. 6“Temubuuliranga bwe mutyo, bwe batyo si bwe babuulirira; tewabanga abuulira bwatyo nti, tetugenda kuswazibwa.”#Am 2:12 7Kiryogerwa, ggwe ennyumba ya Yakobo nti, Omwoyo gwa Mukama tegukyagumiikiriza? Bino bye bikolwa bye? Ebigambo bye tebikola bulungi oyo atambula n'obugolokofu? 8Naye musitukidde ku bantu bange ng'abalabe; abo abatayagala kulwana, muggyako ebyambalo abo abali emirembe, n'okuva kw'abo ababayitako mu bwesigwa nga teebagaala kulwana.#2 Byom 28:8 9Abakazi ab'abantu bange mubagoba mu nnyumba zaabwe ezibasanyusa; abaana baabwe abato mubaggyako ekitiibwa kyange emirembe gyonna. 10Muyimuke, mugende; kubanga wano si kiwummulo kyammwe; olw'obutali bulongoofu obuzikiriza n'okuzikiriza okutenkanika.#Leev 18:25, Ma 12:9, Beb 13:14 11Singa omuntu atambulatambula era n'agenda ayogera eby'obulimba nti, “Nja kukubuulira ku mwenge n'ebitamiiza eby'amaanyi,” oyo ye aliba omubuulizi ow'abantu bano!#Yer 5:13, Am 2:12
Ekisuubizo ky'okununulwa
12Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mmwe mwenna Ggwe Yakobo; ndikuŋŋaanya Abaisiraeri abaasigalawo; ndibateeka wamu ng'endiga eziri mu kisibo; ng'ekisibo ekiri mu ddundiro lyakyo, ekibiina ky'abantu abayoogaana.#2 Bassek 25:11, Yer 31:10 13Oyo abatemera ekkubo alibakulemberamu; baliwaguza ne bayita ku luggi olwa wankaaki, era balifulumira omwo. Kabaka waabwe alibayitako n'abakulemberamu, Mukama yennyini ali mu maaso gaabwe.#2 Bassek 25:10, Is 52:12
Currently Selected:
Mikka 2: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.