Mikka 1
1
Ennyanjula (1:1)
1Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Mikka, Omumolasuuti, mu bufuzi bwa Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, byeyalaba nga bikwata ku Samaliya ne ku Yerusaalemi.#Is 1:1, Yer 26:18, Kos 1:1
Okulangirira kw'omusango ku Isiraeri ne Yuda (1:2—2:13)
2Muwulire, mmwe ab'amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi ne byonna ebirimu, Mukama Katonda abe mujulirwa gye muli, Mukama ng'asinziira mu Yeekaalu ye entukuvu.#Zab 11:4; 50:7, Is 1:2, Mal 3:5 3Kubanga, laba, Mukama ajja ng'ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi.#Is 26:21, Am 4:13 4N'ensozi zirisaanuuka wansi we, n'enkonko ziryatikayatika, ng'envumbo bw'esaanuukira mu muliro, ng'amazzi agayiiriddwa okuva ku lusozi.#Zab 97:5, Nak 1:5 5Ebyo byonna biribaawo olw'okwonoona kwa Yakobo era n'olw'ebibi eby'ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? Si Samaliya? Era ekibi eky'ennyumba ya Yuda kiki? Si Yerusaalemi?#2 Byom 28:4 6Kale ndifuula Samaliya ng'ekifunvu mu ttale; ekifo eky'okusimbamu emizabbibu; era ndisuula amayinja gaakyo mu lukonko, era ndyerula emisingi gyakyo.#1 Bassek 16:24, Mi 3:12 7Ebifaananyi byakyo byonna, birisekulwasekulwa, ne birabo byonna biryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yabikuŋŋaanya nga biva mu mpeera ey'omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey'omwenzi.#Kos 2:12; 8:6 8Olwa kino kyendiva nkungubaga, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambuddemu engoye zange era nga ndi bwereere; ndikungubaga ng'emisege, ndinakuwala nga bamaaya.#Yob 30:29, Is 20:2-4; 22:4 9Kubanga ekiwundu kye tekiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi.#Kos 5:13
Omulabe asemberedde Yerusaalemi
10Temukibuulirako mu Gaasi, temukaaba amaziga n'akatono; mu Besuleyafula mwekulukuunye mu nfuufu.#2 Sam 1:20, Yer 6:26 11Muveeyo, muyitewo mmwe ababeera mu Safiri, nga muli bwereere, era nga mukwatibbwa ensonyi; mmwe ababeera mu Zanani temuvaayo, ebiwoobe ebya Beswezeeri, birikuggyako ekifo kyabyo eky'okuyimiriramu. 12Kubanga abo ababeera mu Malosi balindirira n'okwesunga ebirungi; kubanga akabi kasse, nga kava eri Mukama, ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemi.#Am 3:6 13Musibe amagaali ku mbalaasi ezisinga embiro, mmwe ababeera mu Lakisi, mmwe mwali entandikwa ye kibi eri omuwala wa Sayuuni, kubanga mu ggwe, mu ggwe mwe mwalabikira okwonoona kwa Isiraeri.#2 Bassek 18:14,17, Kos 13:1 14Kyoliva owa ekirabo Molesesu-gaasi, n'ennyumba za Akuzibu ziriba eky'obulimba eri bassekabaka ba Isiraeri. 15Ndireeta gyoli alikuwamba mmwe ababeera mu Malesa, ekitiibwa kya Isiraeri kirituuka ne ku Adulamu. 16Mwefuule ab'ekiwalaata, mwemweko enviiri, olw'okukungubagira abaana bammwe ababasanyusa; mwefuule ab'ebiwalaata ng'empungu; kubanga abaana bo balitwalibwa mu buwaŋŋanguse.#Is 22:12
Currently Selected:
Mikka 1: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.