Mikka Ennyanjula
Ennyanjula
Nnabbi Mikka, yaliwo mu biseera bya nnabbi Isaaya. Yava mu kibuga Molasuuti eky'omu bwakabaka bwa Yuda. Ekitabo kino kyawandiikibwa mu biseera byo bufuzi bwa, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya bassekabaka ba Yuda 627-586 BC. Yamanya nga Yuda yali yakufuna ekibonerezo kye kimu n'ekyo nnabbi Amosi kyeyalanga ku bwakabaka bw'e Samaliya, kubanga Katonda yali ajja kubonereza abantu be olw'obutali bwenkanya bwakyawa ennyo. Naye obubaka bwa Mikka bulimu, obubonero bungi obulaga essuubi mu biseera ebijja. Naddala waliwo w'ayogerera ku kiseera Katonda ky'alifugiramu ensi yonna, n'agiwa emirembe, 4:1-4. Alanga nti walibaawo kabaka alisituka mu lunnyiriri lwa Dawudi. Kabaka oyo alireeta emirembe mu ggwanga, 5:2-4. Afunza obubaka bannabbi bonna aba Isiraeri bwe balina nti, “Mukama kino kyakwagaza, okukolanga eby'amazima, era n'okubanga ab'ekisa, era n'okutambulanga n'obuwombeefu ne Katonda wo” (Mi 6:8).
Ebiri mu kitabo
I. Ennyanjula (1:1).
II. Okulangirira kw'omusango ku Isiraeri ne Yuda (1:2—2:13).
III. Obutali bwenkanya obuliwo n'essuubi ly'obufuzi obw'obwenkanya mu Yerusaalemi (3:1—5:15).
IV. Katonda alabula era azzaawo abantu be (6:1—7:20).
Currently Selected:
Mikka Ennyanjula: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.