YouVersion Logo
Search Icon

Yoswa 23

23
Yoswa asiibula abaana ba Isiraeri
1Awo nga wayise ekiseera kiwanvu era nga Mukama awadde abaana ba Isiraeri okuwummula eri abalabe baabwe bonna abaali babeetooloodde, nga ne Yoswa akaddiye nnyo;#Yos 11:23; 13:1; 24:29 2Yoswa n'ayita Abaisiraeri bonna, abakulembeze be nda zaabwe, abalamuzi baabwe n'abaami baabwe, n'abagamba nti, “Nze nkaddiye nnyo;#Ma 31:28, Yos 24:1, 1 Byom 28:1 3mulabye byonna Mukama Katonda wammwe bye yabakolera ku mawanga gano gonna, kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ye yabalwaniriranga.#Kuv 14:14, Yos 10:14,42 4Laba, mbagabidde amawanga agatannawangulwa nago agawanguddwa okuba obutaka bw'ebika byammwe, okuva ku mugga Yoludaani ebuvanjuba okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba.#Yos 13:2-7 5Ne Mukama Katonda wammwe aligoba amawanga ago nga mulaba, nammwe ne mutwala ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.#Kuv 33:2; 34:11, Kubal 33:53, Ma 4:38; 11:23 6Kale mwekuumenga, mukolenga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka ga Musa, temubivangako okukyamira ku mukono ogwa ddyo ne wankubadde ogwa kkono;#Ma 5:32; 28:14, Yos 1:7 7era muleme nga kwetaba na b'amawanga gano abasigadde mu mmwe, oba okukoowoolanga amannya ga bakatonda baabwe, oba okugakozesanga nga mulayira, oba okusinza bakatonda abo, wadde okubafukaamirira;#Kuv 23:13,33, Zab 16:4, Yer 5:7, Zef 1:5 8naye munywerere ku Mukama Katonda nga bwe mubadde mukola okutuusa kaakano.#Ma 10:20; 11:22; 13:4 9Kubanga Mukama yagoba mu maaso gammwe amawanga amanene ag'amaanyi nga mulaba; naye mmwe, tewali muntu eyayimirira mu maaso gammwe okutuusa kaakano.#Yos 21:44 10Munnammwe omu anaagobanga abalabe lukumi (1,000), kubanga Mukama Katonda wammwe, yabalwanirira, nga bwe yabagamba.#Kuv 14:14, Leev 26:8, Ma 3:22; 32:30, Yos 23:3, Is 30:17 11Kale mwekuumenga mwekka mwagalenga Mukama Katonda wammwe.#Yos 22:5 12Kubanga bwe mulidda emabega, ne mwegatta n'ab'amawanga ago agaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwa nabo,#Kuv 34:16, Ma 7:3, Ezer 9:2 13mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga nate mawanga gano mu maaso gammwe; naye ganaabanga mutego n'ekyambika gye muli, n'oluga ku mbiriizi zammwe n'amaggwa mu maaso gammwe, okutuuka lwe mulizikirira okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.”#Kuv 23:33, Kubal 33:55, Balam 2:3,21 14“Mulabe nze nnaatera okufa. Mwenna mumanyi bulungi mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe, nga Mukama abawadde ebirungi byonna bye yasuubiza, buli kirungi kye yasuubiza akituukirizza. Tewali na kimu kibuzeeko.#Yos 21:45, 1 Bassek 2:2 15Naye nga bwatuukiriza buli kirungi kyeyabasuubiza, bwemulijeema bwatyo Mukama bwalibatuusako buli kabi konna ke yabagamba okutuusa lwalibazikiririza ddala okuva mu nsi eno ennungi gye yabawa.#Leev 26:14-39, Ma 28:15-68 16Bwe munaasobyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubafukaamirira; obusungu bwa Mukama ne bulyoka bubuubuuka ku mmwe ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gye yabawa.”#Ma 4:26

Currently Selected:

Yoswa 23: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yoswa 23