YouVersion Logo
Search Icon

Yoswa 22

22
Okuweereza Katonda mu nsi ensuubize (22:1—24:33)
1Awo Yoswa n'ayita Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, 2n'abagamba nti, “Mukutte byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira, era muwulidde eddoboozi lyange mu byonna bye nnabalagira;#Kubal 32:20-22, Ma 3:18-20, Yos 1:16,17 3temulese baganda bammwe ennaku ezo ennyingi okutuuka leero, naye mukutte ekiragiro eky'etteeka lya Mukama Katonda wammwe. 4Ne kaakano Mukama Katonda wammwe awummuzizza baganda bammwe, nga bwe yabagamba; kale kaakano mukyuke muyingire mu weema zammwe (mugende) mu nsi ey'obutaka bwammwe, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani.#Yos 13:8 5Naye mwekuumenga nnyo okukwatanga ekiragiro n'etteeka, Musa omuweereza wa Mukama lye yabalagira, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okukwatanga amateeka ge, n'okwegattanga naye, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna era n'emmeeme yammwe yonna.”#Ma 6:5,17; 10:12; 11:1,13,22, Yos 23:11 6Awo Yoswa n'abasabira omukisa, n'abasindika; ne bayingira mu weema zaabwe.
7Naye ekitundu ekimu eky'ekika kya Manase Musa yakiwa (obusika) mu Basani; naye ekitundu eky'okubiri Yoswa n'akiwa mu baganda baabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba. Era Yoswa bwe yabasindika mu weema zaabwe, n'abasabira omukisa,#Yos 17:5 8n'abagamba nti, “Muddeyo n'ebintu bingi mu weema zammwe, n'ente nnyingi nnyo, n'effeeza, ne zaabu, n'ebikomo, n'ebyuma, n'engoye nnyingi nnyo; mugabane omunyago ogw'abalabe bammwe ne baganda bammwe.”#1 Sam 30:24
9N'abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddayo nga bava mu baana ba Isiraeri mu Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, okugenda mu nsi ya Gireyaadi, mu nsi ey'obutaka bwabwe, gye baalya, nga Mukama bwe yalagira okuyita mu Musa.#Kubal 32:26,29 10Bwe baatuuka ku lubalama lwa Yoludaani ebugwanjuba mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase ne bazimba awo ekyoto ekinene ennyo ekyewuunyisa. 11Awo abaana ba Isiraeri abalala, bwe bawulira abantu nga boogera nti, “Laba abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi n'ekitundu kye kika kya Manase, bazimbye ekyoto ku nsalo ye nsi ya Kanani, mu kitundu ky'omugga Yoludaani, ku luuyi olw'abaana ba Isiraeri.”#Ma 13:12-15 12Abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira bonna ne bakuŋŋaanira e Siiro babalwanyise.#Balam 20:1
13Abaana ba Isiraeri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ye Gireyaadi;#Kuv 6:25, Kubal 25:7, Balam 20:28 14era awamu naye abakulu kkumi, buli kika kya Isiraeri omukulu omu ow'ennyumba ya bakitaabwe; buli omu yali mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe mu bika bya Isiraeri. 15Ne bajja eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ya Gireyaadi, ne babagamba, 16“Lwaki mwonoonye bwe mutyo mu maaso ga Mukama Katonda wa Isiraeri? Mukama mumujemedde nga mwezimbira ekyoto kino! mumuvuddeko, temukyamugoberera!#Leev 17:8,9, Ma 12:13,14 17Era twongere ku kibi kye twakolera e Peoli, kye tutannaba na kwenaazaako n'okutuusa kaakano, newakubadde nga Mukama yasindika kawumpuli mu bantu be?#Kubal 25:3, Ma 4:3, Zab 106:28, Kos 9:10 18Mwagala kumuvaako leero? Singa mumujeemera olwa leero, enkya ajja kusunguwalira ekibiina kya Isiraeri kyonna.#Kubal 14:9; 16:22 19Naye kaakano oba ng'ensi yammwe tegwanira kusinzizaamu, mujje mu nsi ya Mukama omuli eweema ye, mwefunire ettaka mu ffe, naye temujeemera Mukama, oba okutufuula abajeemu nga muzimba ekyoto ekirala, ng'ate ekyoto kya Mukama Katonda waffe weekiri.#Yos 18:1 20Akani mutabani wa Zeera, bwe yagaana okuwulira ekiragiro ekifa ku bintu ebyali eby'okuzikiriza, ekibiina kyonna ekya Isiraeri tekyabonerezebwa? Akani si ye yekka eyafa olw'ekibi kye.”#Ma 10:17, Zab 44:20,21
21Abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase ne baddamu abakulu be nnyumba zaba Isiraeri abalala nti, 22Mukama, Katonda ow'obuyinza, Mukama, Katonda ow'obuyinza; ye amanyi, era nammwe twagala mumanye kye twakola, ddala oba nga twakikola lwa bujeemu, na lwa kw'eggya ku Mukama, ku luno temutusaasira, 23oba nga twazimba ekyoto lwa kujeemera Mukama, tuleme okumugoberera, oba okukiweerako ekiweebwayo ekyokebwa, oba ekiweebwayo eky'obutta, oba okukiweerako ssaddaaka ezebiweebwayo olw'emirembe, Mukama yennyini atubonereze. 24Naye twakikola kubanga twatya nti gye bujja abaana bammwe bayinza okubuuza abaana baffe nti, “Mulina nkolagana ki ne Mukama Katonda wa Isiraeri?”#Yos 4:6,21 25Kubanga Mukama yafuula Yoludaani okuba ensalo wakati waffe nammwe abaana ba Lewubeeni n'aba Gaadi, n'olwekyo temulina mugabo eri Mukama. Bwe batyo abaana bammwe bandiziyiza abaana baffe okusinza Mukama. 26Kyetwava tuzimbe ekyoto, si lwa kuweerako ebyokye oba ssaddaaka, 27naye kibeere obujulirwa wakati waffe nammwe, n'ab'omu mirembe egiriddawo nti ddala tusinza Mukama era tuwaayo mu maaso ge ebiweebwayo olw'emirembe, gye bujja abaana bammwe baleme okugamba abaana baffe nti, “Temulina mugabo eri Mukama.”#Lub 31:48, Ma 12:5,6,17,18, Yos 24:27 28Kyetwava twogera nti Bwe balitugamba bwe batyo ffe oba emirembe gyaffe mu biro ebigenda okujja, ne tubaddamu nti, ekyo kye kyoto ekifaanana ekya Mukama, bajjajjaffe kye bazimba, si lwa byokye oba lwa ssaddaaka; naye kibeere obujulirwa wakati waffe nammwe. 29Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama, n'okukyama leero obutagoberera Mukama, okuzimba ekyoto olw'ebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo eby'obutta, oba olwa ssaddaaka, okuggyako ekyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso g'eweema ye.#Yos 22:16
30Awo Finekaasi kabona n'abakulembeze b'ennyumba za baana ba Isiraeri abaali awamu naye, bwe baawulira ebigambo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase bye bayogera, ne basanyuka nnyo. 31Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona n'agamba nti, “Kaakano tutegedde nga Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temwamujeemera, muwonyezza Abaisiraeri okubonerezebwa Mukama.”#Leev 26:11,12 32Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona, n'abakulu, ne bakomawo nga bava eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi, mu nsi ya Gireyaadi, ne baddayo, eri abaana ba Isiraeri ne babategeeza ebibaddewo. 33Ebigambo ebyo ne bisanyusa abaana ba Isiraeri ne batendereza Katonda, ne bataddayo kwogera ku byakugenda kulwanyisa ba Lewubeeni n'aba Gaadi n'okuzikiriza ensi mwe babeera.#Luk 1:68; 2:28 34Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi ne batuuma ekyoto ekyo erinnya Edi; ekitegeeza nti bwe bujjulirwa wakati mu ffe nga Mukama ye Katonda.#Lub 31:48,52, Yos 22:27

Currently Selected:

Yoswa 22: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yoswa 22