Yoswa 14
14
Okugabanyamu ensi ey'ebugwanjuba bwa Yoludaani
1Buno bwe butaka; Eriyazaali kabona, Yoswa, mutabani wa Nuuni, n'abakulu be bika; bwe bagabira abaana ba Isiraeri mu nsi ya Kanani,#Kubal 34:17,18 2Obutaka buno bwagabirwa ebika omwenda n'ekitundu nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa.#Kubal 34:13 3Musa yali amaze okugabira ebika ebibiri n'ekitundu obutaka bwabyo obuvanjuba bwa Yoludaani; naye Abaleevi bo teyabagabira butaka.#Yos 13:8 4Bo abaana ba Yusufu bavaamu ebika bibiri, ekya Manase ne Efulayimu; Abaleevi bo tebaweebwa butaka wabula ebibuga eby'okutuulamu, n'ebyalo ebyali biriraanye ettale ery'okulundiramu ente zaabwe n'ebintu byabwe.#Lub 48:5, 1 Byom 5:1,2 5Abaana ba Isiraeri bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.#Kubal 35:1,2, Yos 21:2
Kebbulooni kiweebwa Kalebu
6Lumu ab'omu kika kya Yuda ne bajja eri Yoswa e Girugaali. Kalebu omu kubo mutabani wa Yefune Omukenizi, n'agamba Yoswa nti, “ Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa omuddu wa Katonda mu Kadesubanea ekikwata ku nze naawe.#Kubal 14:24,30; 32:12, Ma 1:36,38 7Nali mpeza emyaka ana (40). Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; naamuleetera amawulire ag'ebintu nga bwe byali ku mutima gwange.#Kubal 13:6,30; 14:6-9 8Naye baganda bange benagenda nabo ne batiisa abantu, wabula nze nnagobererera ddala Mukama Katonda wange kyayagala.#Kubal 13:31-33; 32:9, Ma 1:28 9Ku lunaku olwo Musa nandayirira nga agamba nti, ‘nga bw'okoledde ddala ekyo Mukama Katonda wange kyayagala, ekitundu ky'ensi kyolinyemu ekigere kyo kye kiriba obutaka bwo gwe n'abaana bo emirembe gyonna.’#Kubal 14:24, Ma 1:36 10Era kaakano, giweze emyaka ana mu etaano (45), kasookedde Mukama agamba Musa ebigambo ebyo. Mu biseera ebyo Isiraeri yali ekyatambulira mu ddungu. Era Mukama ankumye nga ndi mulamu nga bweyasuubiza, kati mpezeza emyaka kinaana mu etaano (85).#Kubal 14:30 11Era kaakano nkyali wa maanyi nga ku lunaku luli Musa lwe yantumirako, nkyasobola okulwana oba okukola ekintu ekirala kyonna.#Ma 34:7 12Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki bwe baali mu bibuga ebinene ebiriko ebigo, osanga Mukama anaabeera nange, ne mbagobamu, nga Mukama bwe yayogera.”#Kubal 13:28,33 13Awo Yoswa n'asabira Kalebu omwana wa Yefune omukisa n'amuwa Kebbulooni okuba obutaka bwe.#Yos 10:36,37; 15:13,14; 21:11,12 14Okuva olwo Kebbulooni ne kibeera ekya Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi, okutuusa ne kaakano, kubanga Kalebu yagoberera ddala Mukama, Katonda wa Isiraeri. 15Edda Kebbulooni kyayitibwanga Kiriasualaba, Aluba oyo ye yali asinga obukulu mu ba Anaki. Awo ensi n'ewummula entalo.#Lub 23:2
Currently Selected:
Yoswa 14: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.