Yoswa 13
13
Engabanya y'ensi
(13:1—21:45)
Ebitundu ebitaawangulwa
1Yoswa yali akaddiyidde ddala; Mukama n'amugamba nti, “Okaddiye nnyo, naye wakyasigaddeyo ensi nnyingi ezitanawangulwa.#Yos 23:1 2Zino ze nsi ezikyasigaddeyo: ensi yonna ey'Abafirisuuti n'Abagesuli;#Balam 3:1 3okuva ku mugga Sikoli, oguli ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku nsalo n'Ekuloni mu bukiikakkono, ebalibwa okuba ey'Abakanani era efugibwa abaami abataano (5) ab'Abafirisuuti; Abe Gaza, abe Asudodi, abe Abasukuloni, abe Gitti, n'Abekuloni;#Ma 2:23, Balam 3:3, 1 Byom 13:5, Yer 2:18 4era n'Abavi, ku luuyi olw'obukiikaddyo; eyo y'ensi yonna ey'Abakanani, ne Meala eky'Abasidoni, okutuukira ddala ku Afiki, ku nsalo n'Abamoli; 5n'ensi ey'Abagebali, ne Lebanooni yonna, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku Baalugadi ekiri wansi w'olusozi Kerumooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi,#Kubal 34:8, Yos 12:7, Zab 83:7, Ez 27:9 6Abantu bonna abali mu nsi ey'ensozi okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayimu, be ba Sidoni bonna; ndibagoba ng'abaana ba Isiraeri balaba; kyokka ensi yabwe ogigabire abaana ba Isiraeri okuba obutaka, nga bwe nnakulagira.#Yos 11:8; 23:4,5, Balam 2:21-23 7Kale kaakano ensi eno ogigabe okuba obusika eri ebika omwenda, n'ekitundu eky'ekika kya Manase.”#Yos 14:1,2
Okugabanyamu ensi y'ebuvanjuba bwa Yoludaani
8Ekika kya Lewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu eky'okubiri eky'Ekika kya Manase, byali bimaze okufuna ebitundu ebyabyo, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa obuvanjuba bw'Omugga Yoludaani;#Yos 12:6 9Ekitundu ekyo kiva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna olwa Medeba okutuukira ddala ku Diboni;#Ma 2:36 10n'ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo, ey'abaana ba Amoni;#Kubal 21:24,25 11ne Gireyaadi, n'ensalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'olusozi lwonna Kerumooni, ne Basani yonna okutuuka ku Saleka;#Ma 3:14 12Obwo bwe bwali obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafugira mu Asutaloosi ne mu Ederei eyali omu ku Balefa abaasigalawo. Abo bonna Musa yabawangula, nabasanyaawo.#Kubal 21:24,35, Ma 3:13 13Naye abaana ba Isiraeri tebaagobamu Bagesuli n'Abamaakasi; n'okutuusa kati bakyali mu Isiraeri. 14Ekika ekya Leevi kyokka Musa kyataawa butaka; bo baweebwa ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro eri Mukama Katonda wa Isiraeri, okuba omugabo gwabwe nga Mukama bwe yalagira Musa.#Kubal 18:20-32, Ma 18:2
Obutaka bw'ekika kya Lewubeeni
15Buno bwe butaka Musa bweyawa ekika kya Lewubeeni. 16Ensalo yaabwe eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna oluliraanye Medeba; 17Kesuboni, n'ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi; Diboni, ne Bamosubaali, ne Besubaalumyoni:#Ez 25:9, Kubal 32:37,38 18ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi; 19ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw'omu kiwonvu; 20ne Besupyoli, ne Pisuga awakkirwa, ne Besuyesimosi; 21n'ebibuga byonna eby'olusenyi, n'obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafugiranga e Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n'abaami ab'e: Midiyaani, Evi, Lekemu, Zuuli, Kuli, ne Leba. 22Mu abo abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala mwe mwali ne Balamu omulaguzi mutabani wa Byoli.#Kubal 22:5; 31:8 23Omugga Yoludaani ye yali ensalo ey'ekika kya Lewubeeni ebugwanjuba. Obwo bwe bwali obutaka bw'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
Obutaka bw'ekika kya Gaadi
24Buno bwe butaka Musa bweyawa ekika kya Gaadi. 25Ekitundu kyabwe kyatwaliramu Yazeri, n'ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n'ekitundu eky'ensi ey'abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri ekyolekedde Labba;#Kubal 32:34-36, 2 Sam 11:1; 12:26 26era okuva ku Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu; era okuva ku Makanayimu okutuuka ku nsalo ey'e Debiri;#Lub 32:2 27ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besunimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, ekitundu ekyasigalawo eky'obwakabaka bwa Sikoni kabaka ow'e Kesuboni, Yoludaani n'ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.#Lub 33:17 28Obwo bwe butaka obw'ekika kya Gaadi ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
Obutaka obwaweebwa ekitundu ky'ekika kya Manase ebuvanjuba
29Buno bwe butaka Musa bweyagabira ekitundu eky'ekika kya Manase obuvanjuba bw'omugga Yoludaani. 30Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Makanayimu, n'ekitwaliramu Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w'e Basani, n'ebibuga byonna enkaaga (60) ebya Yayiri, ebyali mu Basani;#Kubal 32:41, 1 Byom 2:23 31kyatwaliramu ekitundu eky'e Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Ederei, n'ebibuga byonna eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, ebyali eby'abaana ba Makiri mutabani wa Manase, kye kitundu eky'abaana ba Makiri ng'enda zaabwe bwe zaali.#Kubal 32:39,40, Yos 12:4
32Bw'atyo Musa bwe yagabanyaamu ekitundu ekiri ebuvanjuba bwa Yeriko ne Yoludaani, mu nsenyi za Mowaabu.#Kubal 22:1 33Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa butaka; Mukama, Katonda wa Isiraeri, gwe mugabo gwabwe, nga Mukama weyalagira Musa.#Kubal 18:20, Yos 13:14
Currently Selected:
Yoswa 13: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.