YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 9

9
Yeremiya akungubagira abantu
1Omutwe gwange singa gubadde mazzi, n'amaaso gange singa luzzi lwa maziga, nnandikaabidenga emisana n'ekiro abo abattiddwa ab'omuwala w'abantu bange! 2Singa mbadde n'ekisulo eky'abatambuze mu ddungu; n'andirese abantu bange ne mbavaako! kubanga bonna benzi, kye kibiina eky'abasajja ab'enkwe.#Yer 5:7,8, Kos 7:4 3Baweta olulimi lwabwe ng'omutego, okulimba so si mazima kweyongera amaanyi mu nsi, kubanga bava mu bubi ne beeyongera mu bubi, so tebammanyi, bw'ayogera Mukama.#Balam 2:10, Zab 64:3, Kos 4:1 4Buli muntu yeekuumenga muntu munne, so temwesiganga wa luganda yenna; kubanga buli waluganda yeefuulira muganda we, na buli muntu atambulatambula ng'awaayiriza munne.#Lub 27:36, Zab 41:9, Yer 6:28; 12:6 5Buli muntu alimba muntu munne, era tewali n'omu ayogera mazima; bayigirizza olulimi lwabwe okwogera eby'obulimba; bakola ebitali bya butuukirivu, beekooya tebagala kwenenya. 6Batuuma okunyigiriza ku kunyigiriza, obulimba ku bulimba; bagaana okummanya, bw'ayogera Mukama.
Katonda ky'anakola Abaisiraeri
7Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa; kubanga nnandikoze ntya olw'omuwala w'abantu bange?#Is 1:25, Yer 6:27 8Olulimi lwabwe kasaale akatta; lwogera eby'obulimba, buli omu ayogera ne munne eby'emirembe n'akamwa ke, naye ate amuteega mu mutima gwe.#Zab 28:3; 57:4; 120:3, Kos 7:6 9Siribabonereza olw'ebyo? Bw'ayogera Mukama, Siriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?#Yer 5:9
Okukungubagira Yuda ne Yerusaalemi
10“Tandika okukaaba amaziga n'okukungubagira ensozi, n'okwesaasaabaga olw'amalundiro ag'omu ddungu, kubanga gookeddwa, ne wataba agayitamu; so n'abantu tebakyawulira kuŋooŋa kwa nte; ennyonyi ez'omu bbanga era n'ensolo zidduse, zigenze.#Yer 4:25; 12:4 11Era ndifuula Yerusaalemi okuba ebifunvu, ekisulo eky'ebibe; era ndifuula ebibuga bya Yuda okuba amatongo awatali abituulamu.”#Is 25:2, Yer 10:22; 34:22 12Musajja ki omugezigezi ayinza okutegeera kino? Era ani oyo akamwa ka Mukama gwe koogedde naye, akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese n'eba nkalu ng'eddungu, ne wataba ayitamu?#Zab 107:43, Yer 23:18, Kos 14:9
Katonda addamu Yeremiya
13Era Mukama ayogera nti, “Kubanga balese amateeka gange ge nnateeka mu maaso gaabwe so tebagondedde ddoboozi lyange so tebatambulidde mu go;#Zab 89:30,32 14naye ne batambula ng'obukakanyavu obw'omutima gwabwe, era ne bagoberera Babaali, nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.#Yer 3:17 15Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndibaliisa abantu bano abusinso ne mbanywesa amazzi ag'omususa.#Yer 8:14 16Era ndibasaasaanyiza mu mawanga, ge batamanyanga bo newakubadde bajjajjaabwe, era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndimalira ddala okubazikiriza.”#Leev 26:33, Yer 15:14; 49:37
Ab'e Yerusaalemi basaba obuyambi
17Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Mulowooze, muyite abakazi abakungubazi, bajje; era mutumye n'abakazi abakalabakalaba, nabo bajje;#2 Byom 35:25 18era banguwe batanule okutukubira ebiwoobe, amaaso gaffe gakulukute amaziga, n'ebikowe byaffe bitiiriike amazzi.#Yer 14:17, Am 5:16, Mak 5:38 19“Kubanga eddoboozi ery'ebiwoobe liwulirwa nga liva mu Sayuuni nti, ‘Nga tuzikiridde! tuswadde nnyo, kubanga twaleka ensi, kubanga basudde ennyumba zaffe.’ ”#Yer 4:13 20Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakazi, n'okutu kwammwe kukkirize ekigambo eky'omu kamwa ke, muyigirize abawala bammwe okukuba ebiwoobe, na buli muntu ayigirize munne okukungubaga. 21Kubanga okufa kulinnye ne kuyita mu madirisa gaffe, era kuyingidde mu mayu gaffe; okumalawo abaana mu bibuga, n'abalenzi mu nguudo.#Yer 6:11 22Mwogere nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Emirambo gy'abasajja girigwa ng'obusa ku ttale ebweru, era ng'ekinywa ekiri emabega w'omukunguzi, so tewaliba agikuŋŋaanya.’ ”#Leev 23:22, Yer 8:2
Katonda addamu
23“Bw'ati bw'ayogera Mukama” nti, “Omusajja omugezigezi teyeenyumirizanga olw'amagezi ge, so n'ow'amaanyi teyeenyumirizanga olw'amaanyi ge, so n'omugagga teyeenyumirizanga olw'obugagga bwe;#Mub 9:11 24naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga olwa kino, ng'ategeera era ng'amanyi nze nga ndi Mukama akola eby'ekisa n'eby'ensonga n'eby'obutuukirivu mu nsi; kubanga ebyo bye nsanyukira, bw'ayogera Mukama.”#Zab 34:2, Mi 6:8; 7:18, 1 Kol 1:31, 2 Kol 10:17 25“ Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndibonereza abo bonna abakomolwa naye nga beeyisa nga abatakomolwanga; 26Misiri, Yuda, Edomu, n'abaana ba Amoni ne Mowaabu ne bonna abamwa oluge ku nviiri zaabwe, ababeera mu ddungu; kubanga amawanga gonna si makomole, n'ennyumba yonna eya Isiraeri si bakomole mu mutima gwabwe.”#Leev 19:27; 26:41, Ma 10:16, Yer 25:19-21,23, Ez 44:7, Bar 2:28,29

Currently Selected:

Yeremiya 9: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in