Yeremiya 8
8
Obutalumwa olw'ekibi
1“Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, amagumba ga bassekabaka ba Yuda, n'amagumba g'abakungu baabwe, n'amagumba ga bakabona, n'amagumba ga bannabbi, n'amagumba g'abantu abalala abali mu Yerusaalemi, baligaggya mu malaalo gaabwe. 2Kale baligaaliirira mu maaso g'enjuba n'omwezi n'eggye lyonna ery'omu ggulu, bye baayagalanga, era bye baaweerezanga, era bye baagobereranga mu kutambula kwabwe, era bye baanoonyanga, era bye baasinzanga; tegalikuŋŋaanyizibwa so tegaliziikibwa; galiba nga obusa ku ttaka kungulu.#Ma 4:19, 2 Bassek 23:5, Yer 9:22, Ez 8:16 3Era abo bonna abafisseewo ku kika kino ekibi, n'abo bonna abasigalawo mu bifo bino gye nnabagobera, baalyagala okufa okusinga obulamu, bw'ayogera Mukama w'eggye.#Yob 3:21,22, Yer 23:3,8, Dan 9:7, Kub 9:6
Ekibi era n'okubonerezebwa
4“Era nate obagambanga nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Abantu baligwa ne batayimuka nate? Omuntu alikyama n'atadda?#Bar 11:11 5Kale abantu bano ab'omu Yerusaalemi kiki ekibazzizza emabega nga baseeseetuka obutayosa? Banywezezza obulimba, bagaanyi okudda.#Yer 7:24; 9:6 6Nawuliriza n'obwegendereza, naye nga tewali ayogera bya mazima; tewali muntu yeenenya bubi bwe ng'ayogera nti, ‘Nkoze ki?’ Buli muntu yeeyongera kugenda mu maaso mu lugendo lwe ng'embalaasi efubutuka okugenda mu lutalo.#Yob 39:19-25, 2 Peet 3:9 7Weewaawo, kasida ow'omu ggulu amanyi ebiseera bye ebyalagirwa; ne kaamukuukulu n'akataayi ne ssekanyolya zirabirira ekiseera mwe zijjira; naye abantu bange tebamanyi kiragiro kya Mukama.”#Lu 2:12, Is 1:3; 38:14, Yer 5:4,5 8“Mwogera mutya nti, ‘Tulina amagezi, n'amateeka ga Mukama gali naffe?’ Naye, laba ekkalaamu ey'obulimba ey'abawandiisi ewandiise ebitali bya mazima.#Bar 2:17,18 9Abagezigezi bakwatiddwa ensonyi, bakeŋŋentererwa, bawambiddwa, laba, bagaanyi ekigambo kya Mukama; era magezi ki agali mu bo?#1 Kol 1:19,20 10#Yer 6:12-15 Kyendiva bakazi baabwe mbawa abalala, n'ennimiro zaabwe, ndiziwa abo abalizirya; kubanga buli muntu, omuto era n'omukulu, wa mululu, nnabbi era ne kabona, buli muntu alyazaamaanya.#Is 56:11 11Era ekiwundu eky'omuwala w'abantu bange, bakiwonyezza kungulu kwokka nga boogera nti, ‘Mirembe, mirembe;’ so nga tewali mirembe. 12Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eky'omuzizo? Nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaayinza kuswala; kyebaliva bagwira mu abo abagwa, bwe ndibabonereza balimeggerwa ddala, bw'ayogera Mukama. 13Bwe ndibakuŋŋaanya, bw'ayogera Mukama, ku muzabbibu tekuliba zabbibu, newakubadde ettiini ku mutiini, n'amalagala galiwotoka; n'ebintu bye nnabawa biribavaako.”#Yo 1:7, Zef 1:2, Mat 21:19, Luk 13:6 14Lwaki tutuula butuuzi? Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera, tufiire eyo; kubanga Mukama Katonda waffe atuwaddeyo tufe, era atunywesezza amazzi ag'omususa, kubanga twayonoona Mukama.#Yer 4:5; 9:15, Kung 3:15,19, Kub 8:11 15Twasuubira emirembe, naye ne wataba birungi ebyajja; twasuubira ebiro eby'okuwonyezebwamu, era, laba, okukeŋŋentererwa!#Yob 30:26, Yer 14:19 16Okufugula kw'embalaasi ze kuwuliddwa ng'oyima e Ddaani; olw'eddoboozi ery'okukaaba kw'ensolo ze ez'amaanyi ensi yonna ekankana; kubanga zizze, era ziridde ensi ne byonna ebigirimu; ekibuga n'abo abakituulamu.#Zab 60:2, Yer 4:15; 10:25; 49:21 17“Kubanga, laba, ndisindika mu mmwe emisota, amasalambwa, agatayinza kuvumulwa; era galibaluma,” bw'ayogera Mukama.
Yeremiya anakuwala olw'abantu be
18Ennaku yange teyinza kuwonyezebwa! Omutima gwange gulwadde munda yange.#Kung 5:17 19Laba, eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'omuwala w'abantu bange eriva mu nsi eri ewala ennyo nti, “Mukama tali mu Sayuuni? Kabaka waakyo tali mu kyo?” “Lwaki bansosonkereza okunnyiiza n'e bifaananyi byammwe ebyole, ne bakatonda ab'amawanga?”#Ma 32:21, Is 39:3 20“Ebikungulwa biwedde, ekyeya kiyise, naffe tetulokose.” 21Kubanga omuwala w'abantu bange afumitiddwa ekiwundu, nange nfumitiddwa ekiwundu; nkungubaga era okusamaalirira kunkutte.#Yob 30:30, Is 22:4, Yer 14:17 22Teri ddagala mu Gireyaadi? Teri musawo eyo? Kale kiki ekirobedde omuwala w'abantu bange okuwona?
Currently Selected:
Yeremiya 8: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.