Yeremiya 44
44
Obubaka bwa Mukama eri aba Isiraeri mu Misiri
1Ekigambo ekyajja eri Yeremiya ku bikwata ku Bayudaaya bonna abaabeera mu nsi y'e Misiri, e Migudooli ne Tapanesi ne Noofu ne mu kitundu ky'e Pasuloosi, nga kyogera nti,#Yer 43:7-9 2“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Mulabye obubi bwonna bwe nnaleeta ku Yerusaalemi ne ku bibuga byonna ebya Yuda; era, laba, leero byonna matongo, so tewali muntu abibeeramu; 3olw'obubi bwabwe bwe baakola okunsomooza okusunguwala, kubanga baagenda okwoteza obubaane n'okuweereza bakatonda abalala bo bennyini be batamanyanga, newakubadde mmwe, wadde bajjajjammwe.”#Yer 1:16; 7:18,19 4“Era naye nnabatumiranga abaddu bange bonna bannabbi, obutasalako, nga njogera nti, ‘Abaffe! temukola kigambo kino eky'omuzizo kye nkyawa!’#2 Byom 36:15 5Naye bo ne batawuliriza so tebaatega kutu, okukyuka okuleka obubi bwabwe, obutayoterezanga bakatonda abalala obubaane. 6N'olw'ekyo ekiruyi kyange n'obusungu bwange kyebwava bufukibwa ne bubuubuuka mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi; era bizise, bifuuse matongo birekeddwa awo, nga bwe kiri leero.”#Yer 9:11 7Kale nno Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ababuuza bw'ati nti, Lwaki mwekolako ekibi ekyenkana awo, okuzikiriza wakati mu mmwe omusajja n'omukazi, omwana omuto n'ayonka, okuva mu Yuda, waleme kusigalawo n'omu ku b'olulyo lwammwe?#Kubal 16:38, Kung 2:11 8Lwaki munsomoza okusunguwala olw'emirimu egy'emikono gyammwe, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane mu nsi y'e Misiri gye mwagenda okubeera? Mukola bwe mutyo, mulyoke mumalibwewo, era mubeere ekikolimo n'ekivume mu mawanga gonna ag'omu nsi?#Yer 1:16; 42:18 9Mwerabidde obubi bwa bajjajjammwe, n'obubi bwa bassekabaka ba Yuda, n'obubi bwa bakazi baabwe, obubi bwammwe, n'obubi bwa bakazi bammwe bwe baakolera mu nsi ya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi?#1 Bassek 11:1,8; 15:13, Yer 44:25 10Naye tebannetoowaza n'okutuusa kaakano so tebannatya, wadde okutambulira mu mateeka n'ebiragiro byange bye nnateeka mu maaso gammwe ne mu maaso ga bajjajjammwe. 11Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, nditeeka amaaso gange okuboolekera olw'obubi, okuzikiriza Yuda yenna.#Yer 21:10 12Era ndiddira ekitundu kya Yuda ekifisseewo abamaliridde okugenda mu nsi y'e Misiri okutuula eyo, era bonna balimalibwawo; mu nsi y'e Misiri; mwe balizikiririra, balimalibwawo n'ekitala n'enjala; balifa, okuva ku muto okutuuka ku mukulu, balifa n'ekitala n'enjala, era baliba ekikyayibwa, ekitiisa, ekikolimo n'ekyewuunyo.#Yer 42:15-18 13Kubanga ndibonereza abo abatuula mu nsi y'e Misiri nga bwe nnabonereza Yerusaalemi, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, 14bw'ekityo tekuliba ku kitundu kya Yuda ekifisseewo abaagenda mu nsi y'e Misiri okutuula eyo, aliwona wadde alisigalawo, oba okudda mu nsi ya Yuda gye baayagala okudda okubeera; kubanga tewaliba abalikomawo wabula abo abalidduka akabi.”#Yer 22:27; 42:17; 44:2
15“Awo abasajja bonna abaamanya ng'abakazi baabwe bootereza bakatonda abalala obubaane, n'abakazi bonna abaali bayimiridde awo, ekibiina ekinene, abantu bonna abaali batuula mu nsi y'e Misiri e Pasuloosi, ne baddamu Yeremiya nga boogera nti, 16‘Ekigambo ky'otubuuliridde mu linnya lya Mukama tetuukuwulire.#Yer 6:16; 42:13 17Naye tulikola buli kintu kye tweyama okukola, okwoterezanga obubaane kabaka w'eggulu omukazi, n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bajjajjaffe, ne bassekabaka baffe n'abakungu baffe, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi; kubanga olwo lwe twabanga n'eby'okulya ebingi, ne tuba bulungi ne tutalaba kabi.#1 Bassek 11:33, 2 Bassek 21:3, Yer 7:18; 19:13 18Naye kasookedde tulekayo okwotereza kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, tubadde mu kudaaga, n'okumalibwawo ekitala n'enjala.’ ” 19Abakazi ne bongerako nti, “Bwe twayoterezanga kabaka w'eggulu omukazi obubaane ne tumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, tekwali nga kukkiriza kwa babbaffe bwe twafumbanga emigaati egiriko ekifaananyi kye, n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa?”#Kubal 30:6,7 20Awo Yeremiya n'agamba abantu bonna, abasajja n'abakazi, abaali bamuzzeemu nti,#Yer 43:6 21“Obubaane bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mmwe ne bajjajjammwe, ne bassekabaka bammwe, n'abakungu bammwe, n'abantu bonna ab'omu nsi, mulowooza nti Mukama taabujjukira era tekyajja mu mwoyo gwe?#Ez 8:10,11; 21:24 22Mukama yali takyayinza kugumiikiriza bibi byammwe, n'emizizo gye mwakola; ensi yammwe kyevudde efuuka amatongo, n'ekyewuunyo n'ekikolimo, nga tewali agituulamu, nga bwe kiri leero.#Yer 5:9,29 23Kubanga mwayoteza obubaane, era kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lya Mukama, era temutambulidde mu mateeka ge newakubadde mu biragiro bye, wadde mu ebyo bye yategeeza; obubi buno kyebuvudde bubatuukako, nga bwe kiri leero.”#Ma 31:29
24Era nate Yeremiya n'agamba abantu bonna, n'abakazi bonna nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri, 25bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mmwe ne bakazi bammwe mulangiridde n'emimwa gyammwe, era mukituukirizza n'emikono gyammwe, nga mwogera nti, Tetulirema kutuukiriza bweyamo bwaffe bwe tweyama okwoterezanga kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukiranga ebiweebwayo eby'okunywa. Kale mukakase obweyamo bwammwe era mutuukirize obweyamo bwammwe. 26Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mmwenna abantu ba Yuda ababeera mu nsi y'e Misiri; laba, ndayidde erinnya lyange ekkulu, bw'ayogera Mukama, ng'erinnya lyange terikyakoowoolwa nate mu kamwa k'omuntu yenna owa Yuda mu nsi yonna ey'e Misiri, ng'ayogera nti,‘ Nga Mukama Katonda bw'ali omulamu.’#Yer 22:5, Ez 20:39 27Laba, mbalabirira olw'obubi so si lwa bulungi; n'abasajja bonna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri balimalibwawo ekitala, n'enjala okutuusa lwe baliggwaawo.#Yer 31:28; 42:16 28N'abo abaliwona ekitala balikomawo okuva mu nsi y'e Misiri ne bajja mu nsi ya Yuda, omuwendo gwabwe nga mutono; n'ekitundu kyonna ekya Yuda abaliba basigaddewo, balimanya kigambo kyani ekiriyimirira, ekyange oba ebyabwe.#Is 27:13, Ez 6:8 29Era kano ke kanaaba akabonero gye muli, bwayogera Mukama nga ndibabonereza mu kifo kino mulyoke mumanye ng'ebigambo byange, tebirirema kuyimirira gye muli olw'obubi;#Nge 19:21 30bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndiwaayo Falaawo Kofera kabaka w'e Misiri mu mukono gw'abalabe be ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwe; nga bwe n'awaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni omulabe we era eyali anoonya obulamu bwe.”#Yer 39:5; 46:26, Ez 29:2-5; 30:21-24
Currently Selected:
Yeremiya 44: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.