YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 45

45
Katonda bye yasuubiza Baluki
1Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya, bwe yawandiika ebigambo bino mu kitabo ng'aggya mu bigambo Yeremiya bye yamugamba mu mwaka ogwokuna nga Yekoyakimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Yuda,#Yer 32:12; 36:1,4,18 2“Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, eri ggwe, Baluki, 3Wayogera nti, Zinsanze kaakano! kubanga Mukama ayongedde obuyinike ku kulumwa kwange; okusinda kwange kunkooyezza, so siraba kuwummula kwonna.#Zab 6:6, Yer 36:26, Kung 1:3; 5:5 4Bw'oti bw'oba omugamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ekyo kye nnazimba ndikyabya, n'ekyo kye nnasimba ndikisimbula; era bwe ndikola bwe ntyo mu nsi yonna.#Is 5:5 5Era weenoonyeza ebikulu? Nedda, tobinoonya, kubanga, laba ndireeta obubi ku bonna abalina omubiri, bw'ayogera Mukama, naye obulamu bwo ndibukuwa okuba omunyago mu bifo byonna gy'onoogendanga.”#Zab 131:1,2, Yer 25:29; 39:18, Bar 12:16

Currently Selected:

Yeremiya 45: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 45