‘Ekigambo ky'otubuuliridde mu linnya lya Mukama tetuukuwulire. Naye tulikola buli kintu kye tweyama okukola, okwoterezanga obubaane kabaka w'eggulu omukazi, n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bajjajjaffe, ne bassekabaka baffe n'abakungu baffe, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi; kubanga olwo lwe twabanga n'eby'okulya ebingi, ne tuba bulungi ne tutalaba kabi.