Yeremiya 41
41
1Awo olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya, Nesaniya mutabani wa Erisama, ow'olulyo olulangira, era omu ku baami abakulu aba kabaka, najja ng'ali n'abasajja kkumi (10), eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, awo bwe baali baliira wamu emmere e Mizupa;#2 Bassek 25:25, Zab 41:9 2Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abasajja ekkumi (10) abaali naye, ne basituka ne bafumita Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani n'ekitala ne bamutta, oyo kabaka w'e Babbulooni gwe yali awadde okufuga ensi.#2 Sam 13:28,29 3Era Isimaeri n'atta n'Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, awamu n'Abakaludaaya abalwanyi abaasangibwayo. 4Awo olwatuuka ku lunaku olwaddirira, okuttibwa kwa Gedaliya, nga tewannabaawo muntu yenna akimanya; 5abasajja kinaana (80) ne batuuka nga bava e Sekemu ne Siiro ne Samaliya, nga bamwedde ebirevu byabwe n'ebyambalo byabwe nga babiyuzizza, era nga beesaze emisale, nga baleese ebitone eby'empeke, era n'obubaane eby'okuwaayo mu nnyumba ya Mukama.#Ma 15:1, 1 Bassek 16:24, Is 15:2 6Awo Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'ava mu Mizupa okubasisinkana, ng'agenda akaaba amaziga; awo olwatuuka bwe yasisinkana nabo, n'abagamba nti, “Mujje muyingire eri Gedaliya mutabani wa Akikamu.” 7Awo olwatuuka bwe baatuuka wakati mu kibuga, Isimaeri mutabani wa Nesaniya, n'abasajja abaali naye, n'abatta bonna n'ebasuula emirambo gyabwe mu luzzi. 8Naye mu bo mwalimu abasajja kkumi (10) abaagamba Isimaeri nti, “Totutta, kubanga tulina; eŋŋaano ne sayiri, n'amafuta, n'omubisi gw'enjuki ebikwekeddwa mu nnimiro.” Awo n'atabattira wamu ne baganda baabwe.#Balam 6:11 9Era oluzzi Isimaeri mwe yasuula emirambo gyonna egy'abasajja be yatta, lwe luzzi olugazi kabaka Asa kabaka lwe yali asimye, okwetaasa bwe yalumbibwa Baasa kabaka wa Isiraeri, Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'alujjuza emirambo egy'abo abattibwa.#1 Bassek 15:22 10Awo Isimaeri n'atwala nga basibe abo bonna abaafikkawo abaali mu Mizupa, abawala ba kabaka n'abantu bonna abaalekebwa e Mizupa, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa be yali ateresezza Gedaliya mutabani wa Akikamu. Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abatwala nga basibe, n'agenda okusomoka okugenda eri abaana ba Amoni.#Yer 38:23; 40:14
11Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye bwe baawulira obubi bwonna Isimaeri mutabani wa Nesaniya bwe yali akoze, 12kale ne batwala abasajja baabwe bonna ne bagenda okulwana ne Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne bamusanga awali ekidiba ekinene ekiri mu Gibyoni.#2 Sam 2:13 13Awo olwatuuka abantu bonna abaali ne Isimaeri bwe baalaba Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, ne basanyuka. 14Awo abantu bonna Isimaeri be yali atutte nga basibe okubaggya e Mizupa, ne bakyuka ne baddayo, ne bagenda eri Yokanani mutabani wa Kaleya. 15Naye Isimaeri mutabani wa Nesaniya, naatoloka ku Yokanani ng'alina abasajja munaana, n'agenda eri abaana ba Amoni. 16Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye ne batwala ekitundu kyonna ekya bantu abali bafisseewo, Isimaeri mutabani wa Nesaniya, beeyali atutte nga basibe okuva e Mizupa, bwe yamala okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu, abasajja abalwanyi, abakazi, abaana abato, n'abalaawe, Yokanani be yali akomezaawo okuva e Gibyoni. 17Awo ne baddayo ne babeera mu Gerusukimamu ekiriraanye Besirekemu, nga bagala okuyingira mu Misiri,#2 Sam 19:37,38 18olw'Abakaludaaya, kubanga baali babatidde, olwa Isimaeri mutabani wa Nesaniya eyatta Gedaliya mutabani wa Akikamu kabaka w'e Babbulooni gwe yali awadde okufuga ensi eyo.
Currently Selected:
Yeremiya 41: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.