Yeremiya 25
25
Omulabe ava mu bukiikakkono
1Ekigambo ekyajja eri Yeremiya ekikwata ku bantu bonna aba Yuda, mu mwaka ogwokuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda; ogwo gwe gwali omwaka ogwolubereberye ogwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni.#2 Bassek 24:1 2Ekyo Yeremiya nnabbi kye yabuulira abantu bonna aba Yuda ne bonna abaali mu Yerusaalemi, ng'ayogera nti, 3“Okumala emyaka abiri mu esatu (23), okuva ku mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ogwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda n'okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kyanjijiranga ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; naye mmwe temwawulirizanga.#Yer 1:2 4Temwawulirizanga wadde okutega amatu gammwe okuwulira, newakubadde Mukama yayongera okubatumiranga abaddu be bonna bannabbi.#2 Byom 36:15, Yer 26:5 5Yayogeranga nti, ‘Mukomewo nno buli muntu ng'aleka ekkubo lye ebbi, n'ebikolwa byammwe ebibi, mulyoke mubeere mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bajjajjammwe, okuva edda n'okutuusa emirembe gyonna;#Yer 7:7; 18:11 6so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, so temunsunguwazanga nga musinza ebyo byemukola n'emikono gyammwe, nange siribakola bubi.’#Yer 7:6; 32:30 7Era naye temwampuliranga, bw'ayogera Mukama; mulyoke munsomoze okunyiiga, olw'ebyo bye mukola n'emikono gyammwe, ne mwerumya mwekka.” 8“ Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga temuwulidde bigambo byange, 9laba, ndituma ne nzirira ebika byonna eby'obukiikakkono, bw'ayogera Mukama, era nditumira Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni omuddu wange, ne mbaleeta okutabaala ensi eno n'abo abali omwo n'amawanga gano gonna ageetoolodde; era ndibazikiririza ddala ne mbafuula ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'amatongo ag'olubeerera. 10Era nate ndibaggyako eddoboozi ery'okusanyuka, n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole, n'eddoboozi ly'omugole, tewaliba asa ku lubengo, wadde ekitangaala ky'ettabaaza.#Mub 12:4, Yer 7:31, Kub 18:22,23 11N'ensi eno yonna eriba matongo era nga tegasa; n'amawanga gano galiweereza kabaka w'e Babbulooni okumala emyaka nsanvu (70).#2 Byom 36:21, Yer 28:14; 29:10 12Awo olulituuka emyaka ensanvu (70) bwe giriggwako, ne ndyoka mbonereza kabaka w'e Babbulooni n'eggwanga eryo, ensi y'Abakaludaaya olw'obubi bwabwe bw'ayogera Mukama, era ndifuula ensi etegasa ennaku zonna.#Is 13:19, Yer 51:24,26,62 13Era ndireeta ku nsi eyo ebigambo byange byonna bye nnagyogerako, byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino Yeremiya bye yayogera eri amawanga gonna.#Yer 36:4,29,32 14Kubanga amawanga mangi ne bakabaka abakulu abalibafuula abaddu, era ndibasasula ng'ebikolwa byabwe bwe biri era ng'omulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli.”#Yer 27:7; 50:9,41; 51:27,28
15Kubanga bw'ati Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yaŋŋamba nti, “Toola ekikompe eky'omwenge ogw'ekiruyi kino mu mukono gwange, okinyweseeko amawanga gonna gye nkutuma.#Yob 21:20, Is 51:17, Yer 51:7 16Kale balinywa ne batagatta ne balaluka olw'ekitala kye ndiweereza mu bo.”#Yer 47:6 17Awo ne ntoola ekikompe mu mukono gwa Mukama, ne nkinywesaako ab'amawanga gonna Mukama gye yantuma.#Is 51:22,23 18Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda ne bakabaka baamu n'abakungu baamu, ne bakinywako, okubafuula amatongo, n'ekyewuunyo, n'okusoozebwanga, n'ekikolimo; nga bwe kiri ne leero.#Yer 18:16, Zek 12:2 19Falaawo kabaka w'e Misiri n'abaddu be n'abakungu be n'abantu be bonna;#Yer 46:25 20n'abagwira bonna abali mu bo, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ya Uzi, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ey'Abafirisuuti, ne Asukulooni ne Gaaza ne Ekuloni n'abafisseewo mu Asudodi;#Is 20:1, Yer 47:1,4,5; 50:37, Kung 4:21, Ez 30:5 21Edomu ne Mowaabu n'abaana ba Amoni;#Yer 48:1-47; 49:1-22 22ne bakabaka bonna ab'e Ttuulo ne bakabaka bonna ab'e Sidoni ne bakabaka b'ekizinga ekiri emitala w'ennyanja;#Is 23:1,2, Yer 47:4 23Dedani ne Tema ne Buzi ne bonna abasala ku nviiri zaabwe; 24ne bakabaka bonna ab'e Buwalabu ne bakabaka bonna ab'abantu abenjawulo ababeera mu ddungu; 25ne bakabaka bonna ab'e Zimuli, ne bakabaka bonna aba Eramu, ne bakabaka bonna aba Abameedi;#Yer 49:34-39; 51:11 26ne bakabaka bonna ab'obukkiikkakkono, ab'ewala n'ab'okumpi, buli muntu ne munne; n'ensi zonna eza bakabaka bwe benkana eziri ku nsi; bonna balikinywesebwako. Kabaka w'e Sesaki#25:26 Sesaki kikozesebwa okutegeeza Babbulooni. ye alisembayo okukinywako.#Yer 50:9; 51:41 27“Era olibagamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Munywe mutamiire museseme mugwe so temuyimuka nate olw'ekitala kye ndiweereza mu mmwe.’ ”#Kaab 2:16 28Awo olulituuka bwe baligaana okutoola ekikompe mu mukono gwo, okunywa, kale olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Muteekwa okunywa!#Yer 49:12 29Kubanga, laba, ntandika okuleeta obubi ku kibuga ekituumiddwa erinnya lyange, era oligenda nga tobonerezeddwa? Temuliwona kubonerezebwa, kubanga ndiyita ekitala okujja ku abo bonna abatuula ku nsi, bw'ayogera Mukama w'eggye.#Nge 11:31, Is 10:12, Am 3:2, 1 Peet 4:17 30Kale gwe obagambanga ebigambo ebyo byonna, nti, Mukama aliwuluguma ng'ayima waggulu, alireeta eddoboozi lye ng'ayima mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera; aliwulugumira n'amaanyi ku kisibo kye; era alyogerera waggulu ng'abo abasamba ezabbibu, abo bonna abatuula ku nsi.#Balam 9:27, Is 16:10, Yo 3:16 31Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y'ensi; kubanga Mukama alina omusango gw'avunaana amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; era ababi alibawaayo eri ekitala, bw'ayogera Mukama.#Is 66:16, Kos 4:1
32Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba, akabi kalifuluma okuva mu ggwanga erimu okugenda mu ggwanga linnaalyo, ne kibuyaga mungi alikunsibwa okuva ku njegoyego ez'enkomerero z'ensi.#Yer 6:22; 23:19 33N'abo Mukama b'alitta baliva ku nkomerero y'ensi balituuka ku nkomerero yaayo, tebalikungubagirwa so tebalikuŋŋaanyizibwa so tebaliziikibwa; baliba busa ku maaso g'ensi.#Yer 16:4 34“Muwowoggane, mmwe abasumba, mukaabe; mwekulukuunye mu vvu, mmwe abakulu ab'omu kisibo; kubanga ennaku ez'okuttibwa kwammwe zituukidde ddala, nange ndibamenyaamenya, nammwe muligwa ng'ekibya ekisanyusa.#Yer 4:8; 6:26; 23:1 35N'abasumba tebaliba na kkubo lya kuddukiramu, newakubadde abakulu ab'omu kisibo tebaliba na kkubo lyakuwoneramu. 36Muwulire eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'abasumba n'okuwowoggana kw'abakulu ab'omu kisibo! kubanga Mukama azisizza eddundiro lyabwe. 37N'ebisibo ebyabangamu emirembe, birisasanyizibwa olw'ekiruyi kya Mukama.#Is 32:18 38Ng'empologoma evudde mu bwekwekero bwayo, kubanga ensi yaabwe efuuse etagasa olw'ekitala ky'omujoozi, n'olw'ekiruyi kya Mukama.”#Yob 38:40, Zab 76:2, Yer 46:16
Currently Selected:
Yeremiya 25: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.