Yeremiya 24
24
Ebibbo eby'ettiini
1Oluvannyuma lwa Nebukadduneeza kabaka we Babbulooni okutwala mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, n'abakungu ba Yuda wamu ne bafundi n'abaweesi, era ng'abatutte e Babbulooni, awo Mukama nanjolesa, era, laba, ebibbo bibiri eby'ettiini nga biteekeddwa mu maaso ga Yeekaalu ya Mukama.#2 Bassek 24:12, Yer 22:24,28, Am 8:1,2, Mat 1:11 2Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nnungi nnyo, ng'ettiini ezisooka okwengera, n'ekibbo eky'okubiri kyalimu ettiini mbi nnyo, zaali mbi nnyo nga teziyinza kuliika.#Is 28:4, Yer 29:17 3Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Yeremiya olaba ki?” Ne njogera nti, “Ttiini; ettiini ennungi, nnungi nnyo; n'embi, mbi nnyo ezitayinza na kuliika, olw'obubi bwazo.” 4Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, 5“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Ng'ettiini zino ennungi, bwe ziri bwe ntyo bwe nditwala nga balungi abo abawaŋŋangusiddwa okuva mu Yuda, be nnasindiikiriza okuva mu kifo kino okugenda mu nsi ey'Abakaludaaya. 6Kubanga ndibateekako amaaso gange olw'obulungi, era ndibakomyawo nate mu nsi eno, era ndibazimba so siribaabuluza; era ndibasimba so siribasimbula.#Yer 29:10; 31:28; 42:10, Am 9:4,15 7Era ndibawa omutima ogw'okummanya nga ndi Mukama; era banaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda waabwe, kubanga balikomawo gye ndi n'omutima gwabwe gwonna.”#Ma 30:6, Yer 29:13; 30:22, Yo 2:12 8“Naye bw'ati bw'ayogera Mukama nti, era ng'ettiini embi ezitayinza na kuliika, olw'obubi bwazo; bwe ntyo bwe ndikola Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be n'abafikkawo ku Yerusaalemi abaasigala mu nsi eno n'abo abali mu nsi y'e Misiri.#Yer 21:1; 43:1—44:30 9ndibafuula eky'entiisa eri obwakabaka bwonna mu nsi, baliba ekivume n'olugero, n'ekikiino n'ekikolimo mu bifo byonna gye ndibagobera.#Ma 28:37, Is 43:28, Yer 15:4; 25:18; 26:6; 29:18,22 10Era ndisindika entalo, n'enjala ne kawumpuli mu bo okutuusa lwe balimalibwawo okuva ku nsi gye nnabawa bo ne bajjajjaabwe.”#Yer 14:12
Currently Selected:
Yeremiya 24: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.