N'ensi eno yonna eriba matongo era nga tegasa; n'amawanga gano galiweereza kabaka w'e Babbulooni okumala emyaka nsanvu (70). Awo olulituuka emyaka ensanvu (70) bwe giriggwako, ne ndyoka mbonereza kabaka w'e Babbulooni n'eggwanga eryo, ensi y'Abakaludaaya olw'obubi bwabwe bw'ayogera Mukama, era ndifuula ensi etegasa ennaku zonna.