Isaaya 65
65
1Nze nnali mwetegefu okwebuuzibwako abo abatambuuzangako;
Nze nnali mwetegefu okuzuulibwa abo abatannoonyanga.
Nnagamba nti, “Ndi wano, ndi wano,”
eri eggwanga eryali litakoowoolangako linnya lyange.#Zek 14:16, Bar 10:20,21, Bef 2:12,13
2Nnagololera emikono gyange okuzibya obudde
eri abantu abajeemu
abatambulira mu kkubo eritali ddungi,
abagoberera ebirowoozo byabwe bo;
3abantu abansunguwaza
mu maaso gange olutata,
nga basalira ssaddaaka mu nsuku,
era nga bootereza obubaane ku matoffaali;#Is 1:29; 57:3-6; 66:17
4abatuula mu malaalo,
abasula mu bifo eby'ekyama;
abalya ennyama y'embizzi
n'amazzi ag'emizizo gali mu bibya byabwe;
5aboogera nti, “Yimirira wekka,
tonsemberera nze kubanga nze nkusinga obutukuvu.”
Abo gwe mukka mu nnyindo yange,
omuliro ogwaka okuzibya obudde.#Is 9:18
6Laba, kiwandiikiddwa mu maaso gange;
sirisirika, naye ndisasula,
weewaawo, ndisasula mu kifuba kyabwe#Zab 50:3; 79:12, Yer 17:1
7obutali butuukirivu bwammwe mmwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjammwe wamu, bw'ayogera Mukama,
abaayoterezanga obubaane ku nsozi
ne banzivoolera ku busozi,
kyendiva nsooka okugera omulimu gwabwe mu kifuba kyabwe.#Kuv 20:5, Ez 20:27,28
8Bw'ati bw'ayogera Mukama
nti, “Ng'omwenge omusu bwe gulabikira mu kirimba,
ne wabaawo ayogera nti,‘Togwonoona,
kubanga gukyalimu akalungi,’
bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaddu bange
nneme okubazikiriza bonna.#Is 17:6
9Era ndiggya ezzadde mu Yakobo
ne mu Yuda ndiggyamu alisikira ensozi zange;
n'abalonde bange baligisikira
n'abaddu bange balituula omwo.#Is 27:6
10Awo Saloni kiriba kisibo kya ndiga,
n'ekiwonvu kya Akoli kiriba kifo ente we zigalamira,
olw'abantu bange abannoonyezza.#Yos 7:26; 24:20, Is 33:9; 35:2; 51:1, Kos 2:15
11Naye mmwe abaleka Mukama,
abeerabira olusozi lwange olutukuvu,
abategekera Mukisa emmeeza,
abajjuliza Kuteekawo omwenge omutabule;#Yos 24:20, Ez 23:41, 1 Kol 10:21
12nze ndibateekerawo ekitala,
nammwe mwenna mulikutama okuttibwa:
kubanga bwe nnayita temwayitaba;
bwe nnayogera temwawulira;
naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange
ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira.”#Is 66:4, Yer 7:13
13Kyava ayogera bw'ati Mukama Katonda
nti, “Laba, abaddu bange balirya,
naye mmwe mulirumwa njala;
laba, abaddu bange balinywa,
naye mmwe mulirumwa nnyonta;
laba, abaddu bange balisanyuka,
naye mmwe muliswala;#Zab 22:26
14laba, abaddu bange baliyimba omutima gwabwe nga gusanyuse,
naye mmwe mulikaaba omutima gwammwe nga gunakuwadde
ne muwowoggana omwoyo gwammwe nga gulumiddwa.#Zab 5:11
15Era mulirekera abalonde bange erinnya lyammwe okuba ekikolimo,
era Mukama Katonda alikutta;
n'atuuma abaddu be erinnya eddala.#Zek 8:13
16eyeesabira omukisa mu nsi
kyanaavanga yeesabira omukisa eri Katonda ow'amazima;
n'oyo alayira mu nsi
anaalayiranga Katonda ow'amazima;
kubanga obuyinike obwasooka bwerabiddwa,
era kubanga bukwekeddwa amaaso gange.#Ma 32:4, Is 43:18, Yer 4:2
17Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya
n'ensi empya;
so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa
so tebiriyingira mu mwoyo.#2 Peet 3:13, Kub 21:1
18Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna
ekyo kye ntonda;
kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka,
n'abantu baamu okuba essanyu.#Is 51:3, Yer 31:7
19Era ndisanyukira Yerusaalemi
ne njaguliza abantu bange;
so n'eddoboozi ery'okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate
newakubadde eddoboozi ery'okulira.#Is 35:10; 62:5
20Temukyavangamu
mwana wa nnaku bunaku,
newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze;
kubanga omwana alifa nga awezeza emyaka kikumi (100),
n'alina ebibi nga awezeza emyaka kikumi (100) alikolimirwa.#Mub 8:12,13
21Era balizimba ennyumba ne basulamu;
era balisimba ensuku ez'emizabbibu ne balya ebibala byamu.#Ez 28:26
22Tebalizimba omulala n'asulamu;
tebalisimba omulala n'alya;
kubanga ng'ennaku ez'omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez'abantu bange,
n'abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw'engalo zaabwe.#Zab 92:12-14
23Tebalikolera bwereere mirimu
so tebalizaala ba kulaba nnaku;
kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa,
n'enda yaabwe wamu nabo.#Ma 28:41, Zab 115:12-15, Is 49:4
24Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba;
era nga bakyayogera ndiwulira.#Dan 9:21
25Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu,
n'empologoma eneeryanga omuddo ng'ente;
n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota.
Tebiriruma so tebirizikiririza
ku lusozi lwange lwonna olutukuvu,
bw'ayogera Mukama.”#Lub 3:14, Is 11:6,7,9
Currently Selected:
Isaaya 65: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.