1
Isaaya 62:4
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika; naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa; kubanga Mukama akusanyukira, n'ensi yo erifumbirwa.
Compare
Explore Isaaya 62:4
2
Isaaya 62:6-7
Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi; tebalisirika n'akatono emisana n'ekiro; mmwe abajjukiza ba Mukama, temuwummulanga, so temumuganyanga kuwummula, okutuusa lw'alinyweza n'afuula Yerusaalemi okuba ettendo mu nsi.
Explore Isaaya 62:6-7
3
Isaaya 62:3
Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
Explore Isaaya 62:3
4
Isaaya 62:5
Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa; era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole, bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira.
Explore Isaaya 62:5