YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 57

57
1Omutuukirivu azikirira,
so tewali akissaako mwoyo;
n'abantu ab'ekisa baggibwawo,
nga tewali alowooza
ng'omutuukirivu aggibwa mu bubi obugenda okujja.#Zab 12:1
2Ayingira mu mirembe;
bawummulira ku bitanda byabwe,
buli muntu atambulira mu bugolokofu bwe.#2 Byom 16:14
3Naye musembere wano,
mmwe batabani b'omukazi omulogo,
ezzadde ly'omwenzi n'omukazi eyeetunda.#Yok 8:41,42
4Muzannyira ku ani?
ani gwe mukongoola ne mumusoomoza?
temuli baana ba kusobya,
zzadde lya bulimba,#Zab 35:21, Is 1:4
5mmwe abeereetera okwegomba mu mivule,
wansi wa buli muti ogumera;
abattira abaana mu biwonvu
wansi w'enjatika z'enjazi?#2 Bassek 16:4, Is 1:29, Ez 16:20,21
6Mu mayinja amaweweevu ag'omu kiwonvu
we wali omugabo gwo; ago, ago kye kitundu kyo;
ago ge wafuukira ekiweebwayo eky'okunywa,
ge wawa ekirabo.
Ndiwooyawooyezebwa ebyo nga bibaddewo?
7Ku lusozi oluwanvu olugulumivu
kwe wasimba ekitanda kyo;
era eyo gye walinnyanga okuwaayo ssaddaaka.
8Era wasimba ekijjukizo kyo emabega w'enzigi n'emifuubeeto,
kubanga weebikkulidde omulala atali nze,
era olinnye ogaziyizza ekitanda kyo
ne weeragaanira endagaano nabo;
wayagala ekitanda kyabwe gye wakirabira.#Ez 16:25; 23:17
9N'ogenda eri kabaka ng'olina amafuta ag'omugavu,
n'oyongera kalifuwa wo,
n'otuma wala ababaka bo,
ne weetoowaza okutuusa ne mu magombe.
10Olugendo lwo lwayinga obunene ne lukukooya;
naye n'otoyogera nti, “ Tewali ssuubi;”
walaba ekyakuzzaamu amaanyi;
kyewava olema okuzirika.#Yer 18:12
11Era ani gwe watya n'otekemuka
n'okulimba n'olimba
n'otonjijukira nze,
so tokissanga ku mwoyo?
obw'edda ssaasirika busirisi,
naawe n'otontya?#Zab 50:21; 78:11,36, Is 51:12,13
12Ndibuulira obutuukirivu bwo,
n'ebikolwa byo nabyo tebirikugasa.
13Bw'okaaba, abo be wakuŋŋaanya bakulokole;
naye empewo eribatwala,
omukka gulibaggirawo ddala bonna;
naye oyo aneesiga nze ye alirya ensi,
era ye alisikira olusozi olutukuvu.#Zab 37:9, Is 11:9, Yer 11:12
14Era alyogera
nti, “ Mugulumize, mugulumize, mulongoose ekkubo,
muggye enkonge mu kkubo ly'abantu bange.”#Is 62:10
15Kubanga bw'atyo bw'ayogera oyo ali waggulu omugulumivu
atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu,
nti, “ Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu,
era wamu n'oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu,
okulamya omwoyo gw'abakkakkamu,
n'okulamya omutima gw'abo ababoneredde.#Zab 34:18; 138:6, Is 9:6; 42:3, Mi 6:6
16Kubanga siriwakana ennaku zonna,
so sirisunguwala emirembe gyonna:
kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange,
n'emmeeme ze nnakola.#Lub 6:3, Zab 103:9
17Olw'omululu gwe ogutali gwa butuukirivu kyennava nsunguwala
ne mmukuba, nnakweka amaaso gange ne nsunguwala;
ne yeeyongera okugenda mu maaso ng'abambaala mu kkubo ly'omutima gwe.#Yer 6:13
18Ndabye amakubo ge, era ndimuwonya;
n'okuluŋŋamya ndimuluŋŋamya, ne mmuddiza ebisanyusa
ye n'abo abamukaabirako.#Is 61:3, Yer 3:22
19Nze ntonda ebibala eby'emimwa: Emirembe, emirembe eri oyo ali ewala n'eri oyo ali okumpi, bw'ayogera Mukama;
nange ndimuwonya.#Bik 2:39, Bef 2:17, Beb 13:15
20Naye ababi baliŋŋaanga ennyanja esiikuuka;
kubanga teyinza kuteeka,
n'amazzi gaayo gasiikuuka ebitosi n'ebisasiro.#Yud 13
21Tewali mirembe, bw'ayogera Katonda wange, eri ababi.”#Is 48:22

Currently Selected:

Isaaya 57: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in