1
Isaaya 45:3
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
era ndikuwa obugagga obw'omu kizikiza n'ebintu ebyakwekebwa ebiri mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda wa Isiraeri, akuyita erinnya lyo.
Compare
Explore Isaaya 45:3
2
Isaaya 45:2
ndikukulembera ne ntereeza ebifo ebitali bisende; ndimenyaamenya enzigi ez'ebikomo ne ntemaatema ebisiba eby'ebyuma
Explore Isaaya 45:2
3
Isaaya 45:5-6
Nze Mukama so tewali mulala; tewali Katonda wabula nze; ndikusiba olukoba, newakubadde nga tommanyanga, balyoke bamanye okuva ebuvanjuba n'okuva ebugwanjuba nga tewali wabula nze; nze Mukama so tewali mulala.
Explore Isaaya 45:5-6
4
Isaaya 45:7
Nze nnassaawo omusana era ntonda ekizikiza; ndeeta emirembe era ntonda obubi; nze Mukama akola ebyo byonna.
Explore Isaaya 45:7
5
Isaaya 45:22
Mutunuulire nze, mulokoke, mmwe enkomerero zonna ez'ensi: kubanga nze Katonda so tewali mulala.
Explore Isaaya 45:22
6
Isaaya 45:1
Bw'atyo Mukama bw'agamba oyo gwe yafukako amafuta, Kuulo, gwe nkutte ku mukono gwe ogwa ddyo, okujeemula amawanga mu maaso ge, era ndisumulula ebiwato bya bakabaka; okuggulawo enzigi mu maaso ge ne ziwankaaki teziriggalwawo
Explore Isaaya 45:1
7
Isaaya 45:23
Neerayidde mwene, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu butuukirivu so tekirikomawo, nga nze buli vviivi lirinfukaamirira, buli lulimi lulirayira nze.
Explore Isaaya 45:23
8
Isaaya 45:4
Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isiraeri omulonde wange; kyenvudde nkuyita erinnya lyo, nkutuumye erinnya newakubadde nga tommanyanga.
Explore Isaaya 45:4