YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 26

26
1Ku lunaku luli oluyimba luno luliyimbirwa mu nsi ya Yuda:
nti, “Tulina ekibuga eky'amaanyi;
obulokozi bw'alissaawo
okuba bbugwe n'enkomera.#Is 60:18
2Mugguleewo enzigi,
eggwanga ettuukirivu erikwata amazima liyingire.#Zab 118:19
3Onoomukuumanga mu mirembe gyo,
oyo alowooleza mu ggwe:
kubanga akwesiga ggwe.
4Mwesigenga Mukama ennaku zonna:
kubanga Mukama Yakuwa
lwe lwazi olutaggwaawo.
5Kubanga akkakkanyizza abo abatuula waggulu
ekibuga ekigulumivu akissa wansi,
akissa wansi okutuuka ne ku ttaka;
akikkakkanya okutuuka ne mu nfuufu.#Is 25:12
6Ebigere birikirinnyirira;
ebigere by'omwavu,
n'ebisinde by'oyo atalina kintu.”
7Ekkubo ery'omutuukirivu bugolokofu:
ggwe omugolokofu oluŋŋamya olugendo olw'omutuukirivu.
8Weewaawo, mu kkubo ery'emisango gyo,
ayi Mukama, mwe twakulindiriranga;
eri erinnya lyo n'eri ekijjukizo kyo
ye eri okwoya kw'obulamu bwaffe.#Kuv 3:15
9Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro,
omwoyo munda yange gukunoonyeza ddala,
kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi,
ababeera mu nsi bayiga obutuukirivu.#2 Byom 33:11,12, Zab 63:6, Lu 3:1
10Omubi ne bwe bamulaga ekisa,
era taliyiga butuukirivu;
mu nsi ey'obugolokofu mw'anaakoleranga ebitali bya nsonga,
so taliraba bukulu bwa Mukama.#Zab 73:3-11
11Mukama, omukono gwo guyimusibwa,
naye tebagulaba,
naye baliraba obunyiikivu bwo eri abantu ne bakwatibwa ensonyi;
leka omuliro ogwaterekerwa abalabe gubamalewo.#Zab 21:9, Is 5:12, Mi 5:9
12Mukama, oliragira emirembe gyetuli:
kubanga n'okukola watukolera emirimu gyaffe gyonna.
13Ayi Mukama Katonda waffe,
abaami abalala batufuze ggwe nga woli,
naye erinnya lyo lye tunaayatulanga lyokka.#2 Bassek 18:4-6, Is 2:8
14Baafa, tebakyali balamu;
bazikiridde, tebagolokoka nate,
kyewava obajjira n'obasangulawo
n'obuza okujjukirwa kwabwe kwonna.
15Wayaza eggwanga, ayi Mukama,
wayaza eggwanga; ogulumizibwa:
ogaziyizza ensalo zonna ez'ensi.#Is 9:3; 54:2,3
16Mukama, lwe balabye ennaku lwe bakujjidde,
baafuka okusaba
okukangavvula kwo bwe kwali ku bo.#Kos 5:15
17Ng'omukazi ali olubuto,
ebiro eby'okuzaala kwe nga binaatera okutuuka,
bw'alumwa n'akaaba ng'abalagalwa;
bwe tutyo bwe twabanga mu maaso go, ayi Mukama.#Is 13:8
18Twali lubuto, twalumwa,
twazaala mpewo;
tetwaleeta kulokola kwonna mu nsi;
so n'abatuula mu nsi tebagudde.
19Abafu bo baliba balamu; emirambo gyabwe girizuukira.
Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu:
kubanga omusulo gwo guli ng'omusulo ogw'oku makya,
n'ettaka liriwandula abafu.#Ez 37:12, Dan 12:2, Kos 13:14
20Jjangu, eggwanga lyange, oyingire mu bisenge byo,
oggalewo enzigi zo,
weekweke akaseera katono,
okutuusa okunyiiga lwe kuliggwaawo.#Is 10:25
21Kubanga, laba, Mukama ajja ng'afuluma mu kifo kye
okubonereza abatuula mu nsi olw'obutali butuukirivu bwabwe;
n'ensi eriggyayo musaayi ogwagiyiikako,
era teriddayo kubikka ku baalyo abattibwa.#Mi 1:3

Currently Selected:

Isaaya 26: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in