Isaaya 25
25
1Ayi Mukama, ggwe Katonda wange;
nnaakugulumizanga, nnaatenderezanga erinnya lyo;
kubanga okoze eby'ekitalo,
bye wateesa edda, mu bwesigwa n'amazima.#Kuv 15:2, Zab 107:31,32
2Kubanga ekibuga okifudde ekifunvu;
ekibuga ekyaliko enkomera okifudde amatongo,
ekibuga ky'abagenyi okifudde obutaba kibuga;
tekirizimbibwa ennaku zonna.#Is 17:1, Yer 51:37
3Abantu ab'amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa,
ekibuga eky'amawanga ag'entiisa kirikutya.
4Kubanga wabanga kigo eri abaavu,
ekigo eri abali mu nnaku abeetaaga,
ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri ebbugumu,
okuwuuma kw'ab'entiisa kulinga kibuyaga akunta ku kisenge.#Is 4:6; 32:2, Nak 1:7
5Ng'olubugumu oluli mu kifo ekikalu
bw'olikkakkanya bw'otyo oluyoogaano olw'abagenyi;
ng'olubugumu bwe lukkakkanyizibwa n'ekisiikirize ky'ekire,
oluyimba olw'ab'entiisa lulikkakkanyizibwa.
6Era ku lusozi luno Mukama ow'eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey'ebya ssava, embaga ey'omwenge omuka, ey'ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey'omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi.#Zab 63:5, Is 2:2,3, Kuv 3:15 7Era alizikiririza ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n'eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna.#Is 22:8, 2 Kol 3:15 8Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n'ekivume eky'abantu be alikiggya ku nsi yonna, kubanga Mukama akyogedde.#Is 1:20; 30:19, Kos 13:14, 1 Kol 15:54, Kub 7:17
9Kale kiryogererwa ku lunaku luli nti, “ Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga n'atulokola, ono ye Mukama, twamulindiriranga, tusanyuke tujagulize obulokozi bwe.”#Lub 49:18, Zab 9:14 10Kubanga ku lusozi luno omukono gwa Mukama kwe guliwummulira, era Mowaabu alirinnyiririrwa mu kifo kye, ng'ebisasiro bwe birinnyiririrwa mu mazzi ag'olubungo.#Yob 40:12, Is 15:1 11Era alyanjuluza engalo ze wakati mu kyo, ng'awuga bw'ayanjuluza engalo ze okuwuga, era alikkakkanya amalala ge wamu n'enkwe ez'engalo ze. 12N'ekigo eky'olukomera oluwanvu olwa bbugwe wo akikkakkanyizza, akissizza wansi, n'akituusa ku ttaka okutuuka ne mu nfuufu.#Is 26:5
Currently Selected:
Isaaya 25: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.