1
Isaaya 26:3
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Onoomukuumanga mu mirembe gyo, oyo alowooleza mu ggwe: kubanga akwesiga ggwe.
Compare
Explore Isaaya 26:3
2
Isaaya 26:4
Mwesigenga Mukama ennaku zonna: kubanga Mukama Yakuwa lwe lwazi olutaggwaawo.
Explore Isaaya 26:4
3
Isaaya 26:9
Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro, omwoyo munda yange gukunoonyeza ddala, kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi, ababeera mu nsi bayiga obutuukirivu.
Explore Isaaya 26:9
4
Isaaya 26:12
Mukama, oliragira emirembe gyetuli: kubanga n'okukola watukolera emirimu gyaffe gyonna.
Explore Isaaya 26:12
5
Isaaya 26:8
Weewaawo, mu kkubo ery'emisango gyo, ayi Mukama, mwe twakulindiriranga; eri erinnya lyo n'eri ekijjukizo kyo ye eri okwoya kw'obulamu bwaffe.
Explore Isaaya 26:8
6
Isaaya 26:7
Ekkubo ery'omutuukirivu bugolokofu: ggwe omugolokofu oluŋŋamya olugendo olw'omutuukirivu.
Explore Isaaya 26:7
7
Isaaya 26:5
Kubanga akkakkanyizza abo abatuula waggulu ekibuga ekigulumivu akissa wansi, akissa wansi okutuuka ne ku ttaka; akikkakkanya okutuuka ne mu nfuufu.
Explore Isaaya 26:5
8
Isaaya 26:2
Mugguleewo enzigi, eggwanga ettuukirivu erikwata amazima liyingire.
Explore Isaaya 26:2