1
Isaaya 25:1
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Ayi Mukama, ggwe Katonda wange; nnaakugulumizanga, nnaatenderezanga erinnya lyo; kubanga okoze eby'ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n'amazima.
Compare
Explore Isaaya 25:1
2
Isaaya 25:8
Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n'ekivume eky'abantu be alikiggya ku nsi yonna, kubanga Mukama akyogedde.
Explore Isaaya 25:8
3
Isaaya 25:9
Kale kiryogererwa ku lunaku luli nti, “ Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga n'atulokola, ono ye Mukama, twamulindiriranga, tusanyuke tujagulize obulokozi bwe.”
Explore Isaaya 25:9
4
Isaaya 25:7
Era alizikiririza ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n'eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna.
Explore Isaaya 25:7
5
Isaaya 25:6
Era ku lusozi luno Mukama ow'eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey'ebya ssava, embaga ey'omwenge omuka, ey'ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey'omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi.
Explore Isaaya 25:6