Isaaya 11
11
Ettabi Eririva ku Yese
1Ensibuka erimera okuva ku kikonge kya Yese, n'ettabi liriroka okuva ku mirandira gye.#1 Sam 17:12, Yer 23:5, Zek 3:8 2Omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, Omwoyo ogw'amagezi n'okutegeera, Omwoyo ogw'okuteesa n'amaanyi, Omwoyo ow'okumanya era n'okutya Mukama.#Is 61:1, Mak 1:10, Yok 1:32, Bik 10:38 3Essanyu lye linaabeeranga mu kutya Mukama. Taasalenga misango ng'okulaba kw'amaaso ge bwe kunaabanga, oba ng'asinziira kw'ebyo by'awulidde obuwulizi.#Yok 7:24 4Naye anaasaliranga abaavu emisango ng'agoberera amazima, era mu bwenkanya anaasaliranga abawombeefu abali ku nsi. Aliwa ekiragiro mu nsi abantu okubonerezebwa, era ababi balittibwa.#Zab 72:2,4, Mal 4:6, 2 Bas 2:8 5Obutuukirivu buliba lukoba lwa mu kiwato kye, n'obwesigwa buliba lukoba lwa mu mugongo gwe.#Bef 6:14 6Omusege gunaasulanga wamu n'omwana gw'endiga, n'engo eneegalamiranga wamu n'omwana gw'embuzi; n'ennyana n'empologoma n'ennyana ensava binaagalamiranga wamu, n'omwana omuto yalizikulembera.#Kos 2:18 7Ente n'eddubu ziririiranga wamu; abaana baazo banaagalamiranga wamu. Empologoma eneeryanga omuddo ng'ente. 8Omwana akyayonka alizannyira ku kinnya eky'enswera, n'omwana eyaakava ku mabeere aliteeka omukono gwe mu kinnya omuli essalambwa. 9Tewalibaawo kikola bulabe wadde okuzikiriza ku Lusozi lwa Katonda Olutukuvu, kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng'ennyanja bw'ejjula amazzi.#Is 65:25, Kaab 2:14
10Olunaku lulituuka, asibuka mu kikolo kya Yese, aliyimirira okuba ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n'ekifo mwalibeera kiriba kya kitiibwa.#Is 49:22, Bar 15:12
11Awo olunaku olwo bwe lulituuka, Mukama aligolola nate omukono gwe omulundi ogwokubiri okukomyawo abasigalawo ku bantu be, ng'abaggya mu Bwasuli, mu Misiri, mu Pasuloosi, mu Kuusi, mu Eramu, mu Sinali, mu Kamasi ne mu bizinga ebiri mu nnyanja.#Is 27:13, Yer 44:1, Zek 10:10 12Mukama aliwanikira amawanga bbendera, okubalaga nti alikuŋŋaanya n'aleeta wamu abo abaagobebwa mu Isiraeri ne mu Yuda, ng'abaggya mu nsonda ennya ez'ensi gye baasaasaanyizibwa.#Is 56:8, Yok 7:35 13Obuggya bwa Efulayimu buliggwaawo, n'abo abateganya Yuda balizikirizibwa. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya, wadde Yuda okuba omulabe wa Efulayimu.#Is 9:21, Ez 37:16-17 14Bombi wamu balirumba Abafirisuuti ebugwanjuba; balyetaba okunyaga abaana b'ebuvanjuba. Baliwangula Edomu ne Mowaabu, n'abaana ba Amoni balibagondera.#2 Sam 8:1,2; 14:12,26 15Mukama alikozesa empewo ye ey'amaanyi, n'akaliza ekikono ky'ennyanja y'e Misiri. Era aligolola omukono gwe ku Mugga Fulaati, n'agwawulamu obugga musanvu, n'asomosa abantu nga tebatobye na bigere.#Is 7:20 16Walibaawo oluguudo, abantu be aba Isiraeri abaasigalawo mwe baliyita nga bava mu Bwasuli, nga bwe lwaliwo eri Isiraeri ku lunaku luli nga bava mu nsi y'e Misiri.#Kuv 14:29, Is 19:23
Currently Selected:
Isaaya 11: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.