Omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, Omwoyo ogw'amagezi n'okutegeera, Omwoyo ogw'okuteesa n'amaanyi, Omwoyo ow'okumanya era n'okutya Mukama. Essanyu lye linaabeeranga mu kutya Mukama. Taasalenga misango ng'okulaba kw'amaaso ge bwe kunaabanga, oba ng'asinziira kw'ebyo by'awulidde obuwulizi.