Koseya 6
6
Okwenenya kw'abantu okw'obukuusa
1“Mujje tudde eri Mukama; kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya; ye yatufumita; era ye alitunyiga.#Is 30:26, Kos 14:1 2Oluvannyuma lwe nnaku bbiri alituzaamu obulamu, ku lunaku olwokusatu alitusitula, tulyoke tubeera balamu mu maaso ge.#Zab 71:20, Luk 24:27,44 3Tusobozese okumanya, tusobozese okunyiikira okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkakakkalira ng'enkya; alijja gyetuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi bwefukirira ettaka.”#Kos 4:6; 14:5, Yo 2:23, Mi 5:2
4Naakukola ntya, ayi Efulayimu? Naakukola ntya ayi Yuda? Okwagala kwo kuliŋŋaanga ekire eky'enkya, ng'omusulo oguggwaawo nga bukyali.#Yer 2:2, Kos 11:8; 13:3 5N'olwekyo mbatemyeteme nga nkozesa bannabbi, mbassiza ne bigambo eby'omu kamwa kange, era n'omusango gwange galiŋŋaanga ekitangaala.#Yer 23:29, Beb 4:12 6Kubanga njagala okwagala okutuukiridde so si ssaddaaka; okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.#1 Sam 15:22, Mat 9:13; 12:7 7Naye bo, era nga Adamu basobezza endagaano: era bankuusizzakuusizza.#Ma 17:2, Yob 31:33, Kos 5:7 8Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi. 9Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe biteega omusajja, bw'ekityo n'ekibiina ekya bakabona bwe kyekuŋŋaanya awamu; batemulira abantu mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obutemu. 10“ Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekivve; obwenzi bwa Efulayimu buli eyo, Isiraeri ayonoonese. 11Era naawe, ayi Yuda, okukungula kutegekeddwa, bwe ndikomyawo emikisa gy'abantu bange.”#Yob 42:10, Zab 126:1, Yo 3:13
Currently Selected:
Koseya 6: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.