Bible App logo
Search Icon

Koseya 7

7
Okusobya kwa Efulayimu
1Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n'ebikolwa ebibi ebya Samaliya; kubanga bakola eby'obulimba, omubbi amenya n'ayingira, n'ekibiina eky'abanyazi banyaga ebweru.#Yer 23:13 2Naye tabalowooza nti njijukira emirimu gyabwe emibi, kaakano ebikolwa byabwe bo bibeetoolodde; era biri mu maaso gange.#Nge 5:22
Olukwe mu lubiri
3Olw'obubi bwabwe basanyusa kabaka, era basanyusa n'abakungu nga babalimbalimba.#Bar 1:32 4Bonna benzi; baliŋŋaanga akabiga akakumibwa omwoki w'emigaati; alekeraawo okuseesa omuliro ng'amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka. 5Ku lunaku lwa kabaka waffe, abakungu beerwaza n'eddalu ery'omwenge; yagolola omukono gwe wamu n'abanyomi. 6Kubanga okufaanana n'akabiga emitima gyabwe gibuubuuka n'ekiruyi; ekiro kyonna obusungu bwabwe bwaka, ku makya bubuubuuka ne bwaka ng'omuliro. 7Bonna bookya ng'akabiga, era balya abafuzi baabwe; bakabaka baabwe bonna bagudde, tewali n'omu ku bo ankaabirira.#2 Bassek 15:10,14,25,30, Kos 8:4
Isiraeri n'amawanga amalala
8Efulayimu yeetabula mu mawanga; Efulayimu omugaati ogutakyusibwa.#Zab 106:35 9Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi, atobese envi, so tamanyi.#Yer 2:24, Kos 5:13 10Era amalala ga Isiraeri ye mujulirwa gy'ali; era naye tebaddanga eri Mukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, newakubadde ebyo byonna nga bimaze okubaawo.#Ez 26:7 11Era Efulayimu aliŋŋaanga ejjiba essirusiru eritalina magezi, bakoowoola Misiri, bagenda eri Obwasuli. 12Bwe baliba bagenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng'ennyonyi ez'omu bbanga, ndibakangavvula olw'ebikolwa byabwe ebibi.#Ma 4:6,8 13Zibasanze, kubanga bawabye okunvaako! okuzikirira kubatuukeko, kubanga banjemedde! nandibanunudde, naye banjogeddeko eby'obulimba.#Ma 28:68, Yer 7:21, Kos 9:9, Am 8:7 14Tebankaabira kuva mu mutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe, olw'eŋŋaano n'omwenge, ne banjeemera. 15Newakubadde nga nnabayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi.#Kos 11:3 16Bakyukira Baali; bali ng'omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n'ekitala olw'olulimi lwabwe oluvuma, olw'ekyo mulifuuka ekisekererwa mu nsi y'e Misiri.#Zab 78:57, Kos 9:3

Currently Selected:

Koseya 7: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in