Bible App logo
Search Icon

Koseya 5

5
Okubonerezebwa okulituuka ku Isiraeri ne Yuda
1Muwulire kino, mmwe bakabona! era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka! musaliddwa omusango okubasinga mmwe; kubanga mwafuuka ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa n'ekitegebwa ku Taboli.#Kos 9:8 2Era mwafuuka obuya obwasimibwa e Sittimu. Naye ndibabonereza bonna.#Zab 50:21, Kos 9:9,15 3Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa; kubanga kaakano, ayi Efulayimu, okoze eby'obwenzi, Isiraeri ayonoonese.#Am 3:2; 5:12 4Ebikolwa byabwe tebibaganya kukyukira Katonda waabwe, kubanga omwoyo ogw'obwenzi guli mu bo, so tebamanyi Mukama.#Is 59:2 5Era amalala ga Isiraeri ye mujulirwa mu maaso ge; Efulayimu alyesittala olw'omusango ggwe; Yuda alyesittalira wamu nabo.#Yer 23:29, Beb 4:12 6Baligenda n'embuzi zaabwe n'ente zaabwe okunoonya Mukama, naye tebalimulaba; kubanga abavuddeko.#1 Sam 15:22, Mat 9:13; 12:7 7Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana abatali babe; kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n'ennimiro zaabwe.#Ma 17:2, Yob 31:33, Kos 5:7
Olutalo wakati wa Yuda ne Isiraeri
8Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n'ekkondeere mu Laama, mulaye eŋŋoma e Besaveni; mukankane ayi Benyamini. 9Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw'okuweerwako ekibonerezo; wakati mu bika bya Isiraeri nnangirira ebikakafu. 10Abakungu ba Yuda baafuse ng'abo abajjulula akabonero k'ensalo; kubo ndibayiwako obusungu bwange ng'amazzi. 11Efulayimu ajoogeddwa, abetenteddwa mu kusalirwa omusango; kubanga yakkiriza okugoberera ebitaliimu.#Yob 42:10, Zab 126:1, Yo 3:13 12Kyenvudde mbeera eri Efulayimu ng'ennyenje, n'eri ennyumba ya Yuda ng'okuvunda.#Yob 13:28 13Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka omukulu, kyokka tayinza kubawonya, wadde okuvumula ekiwundu kyammwe.#2 Bassek 15:19, Is 1:5,6, Kos 14:3 14Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento, eri ennyumba ya Yuda; nze, nze mwene, nditaagulataagula ne nvaawo; ndibatwalira ddala so tewaliba wa kubawonya.#Kos 13:7 15Ndiddayo nate mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange, era mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya nga bagamba nti:#Is 26:16, Yer 29:10-12

Currently Selected:

Koseya 5: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in