Koseya 4
4
Okunenya, okulabula n'ebisuubizo eri Isiraeri
(4:1—14:9)
Mukama avunaana Abaisiraeri
1“Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri,” kubanga Mukama alina empaka n'abantu abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde ekisa, era tewali kumanya Katonda mu nsi.#Is 3:13, Yer 25:31, Mi 6:2 2Ekiriwo kwe kulayira, okulimba, okutta, okubba n'okwenda; bamenya buli ebibasiba, era obutemu buddirira obutemu.#Kos 7:1 3Ensi kyeriva ekungubaga, na buli muntu agituulamu aliyongobera, ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga; weewaawo, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja bijjiddwawo.#Is 24:4, Yer 4:28, Yo 1:10,18, Zef 1:3
Mukama avunaana bakabona
4Waleme okubaawo okuwakana era waleme kubaawo anenya, kubanga okuwakana kwange kuli naawe Ggwe kabona.#Ma 17:12 5Olyesitala emisana, era nnabbi alyesittalira wamu naawe ekiro, era ndizikiriza nnyoko. 6Abantu bange bazikiridde olw'okubulwa okumanya; kubanga ogaanyi okumanya, nange ndikugaana ggwe, oleme okubeera kabona wange, kubanga weerabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo.#Nge 1:29, Is 5:13, Yer 23:39 7“Bakabona gye bakoma okweyongera obungi, gye bakoma n'okwonoona mu maaso gange; ndikyusa ekitiibwa kyabwe ne nkifuula ensonyi.#Mal 2:9 8Ekibi ky'abantu bange, kiri nga emmere gyebali, ne beegomba obutali butuukirivu bwabwe. 9Ng'abantu bwe bali, ne bakabona bwe batyo bwe bali: era ndibabonereza olw'empisa zaabwe, era ndibasasula olw'ebikolwa byabwe.#Is 24:2 10Balirya naye tebalikkuta; balyenda so tebalyala, kubanga banvuddeko nze Mukama, ne basinza ba katonda abalala.”#Kag 1:6
Mukama avumirira okusinza ebitali Katonda
11Omwenge omusu n'omukulu bimalawo okutegeera.#1 Bassek 11:4 12Abantu bange beebuuza ku bintu eby'emiti, era n'omuggo gwabwe bibabuulire ebya Katonda, kubanga omwoyo ogw'obwenzi gubakyamizza, era balese Katonda waabwe ne bagenda mu bwenzi.#Yer 2:27 13Basalira ssaddaaka ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emiti: Emivule, Emiribine n'Emyera, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi: abawala bammwe kyebaava beefuula abenzi, era n'abagole bammwe benda.#Is 1:29, Ez 6:13 14Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula abenzi, newakubadde abagole bammwe bwe bakabawala; kubanga abasajja bennyini mudda wabbali n'abakazi abenzi ne muweerayo ssaddaaka n'abenzi b'omu biggwa, era abantu abatalina kutegeera balizikirira.#Kos 9:10 15Newakubadde nga weefuula omwenzi, Ggwe, Isiraeri, leka Yuda aleme kusingibwa musango. Temuyingiranga mu Girugaali, wadde okugenda e Besaveni, so temulayiranga nti, “ Nga Mukama bw'ali omulamu.”#1 Bassek 12:29, Kos 9:15; 12:11, Am 4:4 16Ng'enduusi endalulalu, Isiraeri mulalulalu; kaakano Mukama asobola okubaliisa ng'omwana gw'endiga mu ddundiro eggazi? 17Efulayimu yeegasse n'ebifaananyi, muleke asigale nga bwali. 18Ekibinja ky'abatamivu, beewaddeyo eri obwenzi; baagala nnyo ensonyi, okusinga bwe baagala ekitiibwa. 19Empewo ebasanikidde mu biwaawaatiro byayo, era balikwatibwa ensonyi olw'ebyoto byabwe.#Is 1:29; 57:13, Yer 4:11, Kos 13:15
Currently Selected:
Koseya 4: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.