Bible App logo
Search Icon

Koseya 3

3
Koseya n'omukazi omwenzi
1Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano gwe omulala, era nga mwenzi, nga Mukama bw'ayagala abaana ba Isiraeri, newakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obukoleddwa mu zabbibu enkalu.”#Lu 2:5 2Awo ne mmwegulira ne mmuwasa ne Sekeri za ffeeza kkumi na taano ne komeri eya sayiri, ne ngattako ne kitundu ekya komeri eya sayiri,#Leev 27:16 3ne mmugamba nti, “Oteekwa okubeera awo ng'oli wange okumala ekiseera ekiwanvu; tolyefuula mwenzi, so toliba muka musajja mulala yenna, nange bwe ndiba bwe ntyo gy'oli.”#Ma 21:13 4Kubanga abaana ba Isiraeri balimala ekiseera kiwanvu nga tebalina kabaka so nga tebalina mulangira, wadde omukulembeze, era nga tebalina ssaddaaka, newakubadde empagi, era nga tebalina kizibawo kya kabona newakubadde baterafi,#Balam 17:5, Kos 10:1, Yer 23:5; 50:4, Ez 34:24, Kos 1:11, Mi 7:17 5oluvannyuma abaana ba Isiraeri balikomawo ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe; era balijja mu kutya eri Mukama n'eri obulungi bwe mu nnaku ez'oluvannyuma.#Is 2:2

Currently Selected:

Koseya 3: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in