Koseya 13
13
Isiraeri esalirwa omusango ogw'enkomerero
1Efulayimu bwe yayogera, abasajja ne bakankana; yagulumizibwa mu Isiraeri, naye nnafuna omusango ogw'okusinza Baali, n'afa. 2Era kaakano beeyongera bweyongezi okwonoona, n'ebeekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ebifaananyi ebikoleddwa n'amagezi mu ffeeza yaabwe, byonna mulimu ogw'omukozi ow'amagezi. Muweeyo ssaddaaka eri bino, bwe boogera, abasajja banywegera ennyana!#1 Bassek 19:18, Is 40:19,20, Zab 115:4 3N'olwekyo kyebaliva babeera nga kalenge ow'oku makya, era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali nkya, baliba ng'ebisusunku embuyaga ez'akazimu bye zifuumuula okubiggya mu gguuliro, era ng'omukka oguyita mu kituli ne gufuluma.#Zab 1:4; 68:2, Kos 6:4 4Era naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; so naawe tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi mulala okuggyako nze.#Kuv 20:3, Is 43:11; 45:21 5Yali nze eyakumanyira mu ddungu, mu nsi eyeekyeya;#Ma 2:7 6Naye bwe baalya ne bakutta, bwe bajjula, omutima gwabwe ne gwegulumiza; bwe batyo ne banneerabira.#Ma 8:12-14, Kos 4:7 7Bwentyo ndibeera gyebali ng'empologoma, era ng'engo nditeegera mu kkubo.#Yer 5:6, Kos 5:14 8Ndibagwako ng'eddubu ennyagiddwako abaana baayo, era ndiyuza ne mbikkula amabeere gaabwe, era eyo ndibalya ng'empologoma; ng'ensolo ey'omunsiko bwe yandibataaguddetaagudde.#2 Sam 17:8 9Ndi kuzikirira ggwe, ayi Isiraeri. Ani aliyinza okukuyamba?#Ma 33:26 10Kabaka wo nno ali ludda wa, okukulokola; bali ludda wa abafuzi bo, okukulwanirira abo bewayogerangako nti, “Mumpe kabaka n'abafuzi?”#1 Sam 8:5,19, Kos 8:4 11Mbawadde bakabaka nga ndiko obusungu, era mbabaggyeeko nga ndiko ekiruyi.#1 Sam 8:22 12Obutali butuukirivu bwa Efulayimu busibiddwa; ekibi kye kiterekeddwa.#Yob 14:17 13Obubalagaze bw'omukazi alumwa okuzaala bulimutuukako, ye mwana atalina magezi; kubanga ekiseera kye kituuse aleme okulwa mu kifo omuyita abaana nga bazaalibwa.#2 Bassek 19:3, Is 13:8 14Ndibanunula eri amaanyi ag'emagombe? Ndibagula okuva eri okufa? Ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? Ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? Okusaasira kukwekeddwa okuva mu maaso gange.#Is 25:8; 26:19, Ez 9:10; 37:12, 1 Kol 15:55 15Newakubadde ng'alina ebibala bingi mu baganda be, nze Mukama ndisindika embuyaga ez'ebuvanjuba zirijja, okuva mu ddungu, n'ekaza enzizi zaabwe, ensulo ye n'eggwaawo, erinyaga eby'obugagga byonna ebisanyusa ebyaterekebwa.#Lub 41:52, Ez 17:10; 19:12 16Samaliya alibaako omusango, kubanga ajeemedde Katonda we, baligwa n'ekitala, abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n'abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa.#2 Bassek 8:12; 18:12, Kos 9:12; 10:14
Currently Selected:
Koseya 13: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.