Koseya 14
14
Koseya abuulirira Isiraeri
1Komawo ayi Isiraeri, eri Mukama Katonda wo; kubanga weesitadde olw'obutali butuukirivu bwo. 2Mugende n'ebigambo era mudde eri Mukama, mumugambe nti, “Ggyawo obutali butuukirivu bwaffe bwonna, okkirize ebirungi, naffe tunawaayo ekibala eky'emimwa gyaffe.#Zab 50:13,14, Beb 13:15 3Asuli talituwonya; tetulyebagala mbalaasi; so tetuligamba nate, ‘Katonda waffe,’ eri emirimu gye mikono gyaffe. Mu ggwe bamulekwa mwebafunira okusaasirwa.”#Zab 10:14, Is 30:16; 31:1
Mukama asuubiza Isiraeri obulamu obuggya
4Ndiwonya obutali butuukirivu bwabwe; ndibaagala mu ddembe, kubanga obusungu bwange bukyuse ne bubavaako. 5Ndiba ng'omusulo eri Isiraeri; alimulisa ng'eddanga, era alisimba emirandira gye nga Lebanooni.#Zab 92:12, Is 27:6; 35:2, Kos 6:3 6Amatabi ge galyagaagala, obulungi bwe buliba ng'omuzeyituuni, n'akaloosa ke nga Lebanooni.#Zab 52:8 7Balikomawo n'ebabeera wansi w'ekisiikirize kyange, baligimuka ng'ennimiro, ne bamulisa ng'omuzabbibu, akawoowo kaabwe kaliba ng'omwenge ogwa Lebanooni.#Zab 91:1 8Efulayimu, kiki kyenina okukola ne ebifaananyi? Nze nkuddamu era ne nkunoonya. Ninga omuberosi omugimu, okuva gye ndi ebibala byo gy'ebiva.#Is 30:22, Kos 2:8, Yok 15:4,5
Okufundikira
9Buli alina amagezi ategeere ebintu bino; buli alina okwawula, abimanye; kubanga amakubo ga Mukama matuufu, era abatuukirivu baagatambuliramu; naye abajeemu bagesittalako.#Zab 107:43, Nge 10:29, Yer 9:12, Dan 12:10
Currently Selected:
Koseya 14: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.