Koseya 12
12
Isiraeri ne Yuda zisalirwa omusango
1Efulayimu agoba mpewo, era olunaku lwonna agoberera empewo ez'ebuvanjuba; tata kwogera bya bulimba na bya bukambwe, era balagaana endagaano n'Obwasuli, ne batwala n'amafuta mu Misiri.#2 Bassek 17:4, Kos 7:13 2Era Mukama alina ky'avunaana Yuda, era alibonereza Yakobo, ng'amakubo ge bwe gali; era alimusasula ng'ebikolwa bye bwe biri. 3Mu lubuto, yakwata muganda we ku kisinziiro era bwe yakula n'ameggana ne Katonda.#Lub 25:26; 32:28 4Yameggana ne malayika n'awangula, yakaaba amaziga n'anooya ekisa kye. Yasisinkana Katonda e Beseri, era eyo Katonda naayogera naye.#Lub 28:13,19 5Mukama Katonda ow'eggye, Mukama lye linnya lye.#Kuv 3:15 6Kale gwe ng'oyambibwa Katonda wo, nnyweza okwagala n'obwenkanya, era olindirire ennaku zonna Katonda wo.#Yo 2:12,13, Mi 6:8
Ebigambo ebirala ebirumiriza omusango
7Omusuubuzi, mu mikono gye nga mulimu minzaani ey'obulimba, ayagala okunyigiriza.#Nge 11:1, Am 8:5, Mi 2:2; 6:11 8Efulayimu ayogedde nti, “Mazima ndi mugagga, nneefunidde ebintu bingi;” naye obugagga bwe bwonna, tebuyinza kuggyawo musango gwe yakola.#Ma 29:19, Zek 11:5, Kub 3:17 9Naye nze ndi Mukama Katonda wo, okuva mu nsi y'e Misiri; ndiddamu okubasuza mu weema nga ku nnaku ez'embaga ezatekeebwawo.#Leev 23:39-43, Nek 8:4-18 10Era n'ayogeranga ne bannabbi, era nze nnaayongeranga okwolesebwa gyebali, era ne mbagereranga engero nga mpita mu bannabbi.#2 Bassek 17:13 11Bwe waba nga waliwo obutali butuukirivu mu Gireyaadi, bwonna buliggwaawo; bwe baba nga mu Girugaali bassaddaaka ente ennume, ebyoto byabwe birifuuka ng'entuumu z'amayinja ku mbibiro z'ennimiro. 12(Yakobo n'addukira mu nsi ya Alamu, era eyo Isiraeri n'aweereza afune omukazi, Isiraeri n'aweereza omuntu omulala, era olw'omukazi n'alunda endiga).#Lub 28:5; 29:20 13Nga ayita mu nnabbi Mukama n'aggya Isiraeri mu Misiri, era ng'ayita mu nnabbi n'amubeezaawo.#Kuv 12:50,51, Ma 18:15, Zab 77:20 14Efulayimu asunguwazizza nnyo Mukama, omusaayi gwe kyeguliva gusigala ku ye, Mukama alibabonereza olw'okumunyooma.#2 Bassek 17:17
Currently Selected:
Koseya 12: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.