YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 46

46
Isiraeri n'ab'omu nnyumba ye bagenda e Misiri
1Awo Isiraeri n'atwala byonna bye yalina n'agenda e Beeruseba, n'awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.#Lub 26:23-25 2Katonda n'ayogera ne Isiraeri mu kwolesebwa okw'ekiro, n'amugamba nti, “Yakobo, Yakobo.” N'addamu nti, “Nze nzuuno.”#Lub 15:1, Yob 33:14,15 3N'ayogera nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta mu Misiri; kubanga ndikufuulira eyo eggwanga eddene.#Lub 12:2; 28:13, Ma 26:5 4Ndigenda naawe e Misiri, era sirirema kukuggyamu nate; era bw'olifa, Yusufu alikuziika.”#Lub 28:15; 50:24, Kuv 3:8 5Yakobo n'asituka, n'ava e Beeruseba; batabani be ne bamuteeka ye, n'abaana baabwe ne bakazi baabwe, mu magaali kabaka w'e Misiri ge yaweereza okumutwaliramu.#Lub 45:27 6Ne batwala ensolo zaabwe n'ebintu byabwe bye baafuna mu nsi ya Kanani, ne bagenda mu Misiri. Yakobo n'agenda n'ezzadde lye lyonna,#Yos 24:4, Zab 105:23, Is 52:4, Bik 7:15 7batabani be ne bazzukulu be ab'obulenzi n'ab'obuwala.
8Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaagenda e Misiri, Yakobo ne batabani be: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo.#Kuv 1:1-5; 6:14-16, Kubal 26:5,6, 1 Byom 5:1-3 9Ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, Palu, Kezulooni, ne Kalumi. 10Simyoni ne batabani be: Yemweri, Yamini, Okadi, Yakini, Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani.#Kubal 26:12,13, 1 Byom 4:24 11Leevi ne Batabani be: Gerusoni, Kokasi, ne Merali. 12Yuda ne batabani be: Eri, Onani, Seera, Pereezi, ne Zeera; naye Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Ne batabani ba Pereezi baali Kezulooni ne Kamuli.#Lub 38:7,10, 1 Byom 4:24 13Isakaali ne batabani be: Tola, Puva, Yobu, ne Simuloni.#1 Byom 7:1 14Zebbulooni ne batabani be: Seredi, Eroni, ne Yaleeri.#Kubal 26:26 15Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, wamu ne muwala we Dina; abaana be bonna abasajja n'abakazi baali abantu asatu mu basatu (33).#Lub 29:32-35; 30:17-21 16Batabani ba Gaadi: Zifiyooni, Kagi, Suni, Ezeboni, Eri, Alodi, ne Aleri.#Kubal 26:15-17 17Batabani ba Aseri: Imuna, Isuva, Isuvi, Beriya, ne Seera mwannyinaabwe; ne batabani ba Beriya: Keberi, ne Malukiyeeri.#Kubal 26:44-46, 1 Byom 7:30,31 18Abo ekkumi n'omukaaga (16), lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Zirupa, omuzaana Labbani gwe yawa Leeya muwala we.#Lub 29:24; 30:10-13 19Batabani ba Laakeeri mukazi wa Yakobo: Yusufu ne Benyamini. 20Mu nsi y'e Misiri, Asenansi, muwala wa Potifari, kabona w'e Oni yazaalira Yusufu abaana ab'obulenzi babiri: Manase ne Efulayimu.#Lub 41:50-52 21Ne batabani ba Benyamini: Bera, Bekeri, Asuberi, Gera, Naamani, Eki, Losi, Mupimu, Kupimu, ne Aludi.#Kubal 26:38-40 22Abo ekkumi (10) n'abaana be batabani ba Laakeeri, be yazaalira Yakobo. 23Ne mutabani wa Ddaani: Kusimu.#Lub 35:25 24Batabani ba Nafutaali: Yazeeri, Guni, Yezeeri, ne Siremu.#Lub 30:7, 1 Byom 7:13 25Abo omusanvu (7) lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Bira, omuzaana Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we.#Lub 29:29; 30:5-8 26Ezzadde lya Yakobo lyonna eryagenda mu Misiri, lyali abantu nkaaga mu mukaaga (66), nga tobaliddeemu baka batabani be. 27Batabani ba Yusufu, abaamuzaalirwa mu Misiri, baali babiri. Abantu bonna ab'omu nnyumba ya Yakobo abaagenda mu Misiri baali nsanvu (70).#Kuv 1:5, Ma 10:22, Bik 7:14
Yakobo n'ab'omu nnyumba ye mu Misiri
28Yakobo n'atuma Yuda okumukulemberamu, agende eri Yusufu amusabe abasisinkane e Goseni. Awo ne batuuka mu nsi y'e Goseni. 29Yusufu n'ateekateeka eggaali lye, n'ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; n'amweyanjulira, n'amugwa mu kifuba, n'akaaba amaziga okumala ekiseera kinene. 30Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Kaakano naafa bulungi kubanga nkulabyeko ne mmanya ng'okyali mulamu.”#Luk 2:29,30 31Yusufu n'agamba baganda be n'ennyumba ya kitaawe nti, “Ka ŋŋende mbuulire Falaawo nti, ‘Baganda bange n'ennyumba ya kitange abaali mu nsi y'e Kanani, batuuse ewange. 32Basajja basumba era abalunzi b'ebisolo; baleese endiga, ente, n'ebintu byabwe byonna.’ 33Awo Falaawo bw'alibayita n'ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ 34Mumuddangamu nti, ‘Ffe abaddu bo tuli balunzi okuva mu buto n'okutuusa kaakati, era ne bajjajjaffe bwe baali;’ mulyoke mutuule mu nsi ey'e Goseni; kubanga kya muzizo Abamisiri okubeera awamu n'abasumba.”#Lub 37:12; 43:32, Kuv 8:26

Currently Selected:

Olubereberye 46: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in