Olubereberye 47
47
1Yusufu n'alyoka ayingira n'agamba Falaawo nti, “Kitange ne baganda bange, endiga zaabwe, n'ente zaabwe ne byonna bye balina, batuuse nga bava mu nsi ya Kanani, era kati bali Goseni.”#Lub 45:10; 46:31 2N'alonda ku baganda be abasajja bataano, n'abaleetera eri Falaawo. 3Falaawo n'ababuuza nti, “Mukola mulimu ki?” Ne baddamu Falaawo nti, “Abaddu bo tuli basumba nga bajjajjaffe bwe baali.”#Lub 46:33,34 4Ne bagamba Falaawo nti, “Tuzze okutuula mu nsi eno; kubanga enjala nnyingi mu nsi ya Kanani, so tewali muddo gwa kuliisa bisibo byaffe. Kale kaakano tukwegayiridde kiriza abaddu bo batuule e Goseni.”#Lub 43:1 5Falaawo n'agamba Yusufu nti, “ Kitaawo ne baganda bo bazze gy'oli; 6ensi y'e Misiri eri mu maaso go; kale laba awasinga obulungi, e Goseni w'oba obatuuza; era oba omanyi ku bo ab'amagezi, bafuule abalunzi b'ente zange.”
7Awo Yusufu n'ayingiza Yakobo kitaawe, n'amwanjula eri Falaawo; Yakobo n'asabira Falaawo omukisa. 8Falaawo n'abuuza Yakobo nti, “Olina emyaka emeka?” 9Yakobo n'amuddamu nti, “Nnina emyaka kikumi mu asatu (130). Emyaka egyo gibadde mitono, era mibi, tegyenkana gya bajjajjange gye baawangaalanga.”#Lub 11:32; 25:7; 35:28, Yob 14:1, Zab 39:12; 119:54, Mub 2:23, Beb 11:13 10Yakobo era n'asabira Falaawo omukisa, n'alyoka avaayo. 11Yusufu n'asenza kitaawe ne baganda be, n'abawa obutaka mu nsi ye Misiri, awasinga obulungi, e Lameseesi, nga Falaawo bwe yalagira.#Lub 45:10; 47:6, Kuv 1:11; 12:37 12Yusufu n'aliisa kitaawe ne baganda be n'ab'ennyumba zaabwe zonna emmere.
Enjala yeeyongera
13Enjala n'eba nnyingi nnyo mu nsi ye Misiri ne mu nsi ya Kanani, abantu n'okuzirika ne bazirika olw'enjala. 14Yusufu n'aguza eŋŋaano abantu bonna ab'omu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, n'akuŋŋaanya effeeza nnyingi, n'agiteeka mu ggwanika lya Falaawo.#Lub 41:56 15Effeeza yonna bwe yaggwaawo mu nsi y'e Misiri ne ya Kanani, Abamisiri bonna ne bagenda eri Yusufu, ne bamugamba nti, “Tuwe emmere tuleme kufa kubanga ffeeza etuweddeko.” 16Yusufu n'abaddamu nti, “Oba ng'effeeza ebaweddeko, muleete ensolo zammwe mbaweemu emmere.” 17Ne baleetera Yusufu ensolo zaabwe: embalaasi, endiga, ente n'endogoyi, n'abawamu emmere; n'abaliisa bwatyo okumala omwaka mulamba. 18Omwaka ogwaddirira, ne bajja nate eri Yusufu ne bamugamba nti, “Tetujja kukukisa mukama waffe, effeeza yaffe yonna yaggwaawo, n'ebisibo byaffe byonna biweddewo, tewali kye tusigazza, okuggyako ffe ffennyini n'ettaka lyaffe. 19Totuleka kufa, n'ensi yaffe okuzikirira ng'olaba. Tugule, ffe n'ebibanja byaffe, otuweemu emmere. Tunaabanga baddu ba Falaawo, era n'ettaka lyaffe linaabanga lirye. Tuwe eŋŋaano ey'okulya n'ey'okusiga, tuleme kufa, era tulime, ensi yaffe ereme okuzika.”#Nek 5:4,5 20Awo Yusufu n'agulira Falaawo ensi yonna ey'e Misiri; kubanga Abamisiri baatunda buli muntu ettaka lye, olw'enjala okuyitirira; ensi yonna n'efuuka ya Falaawo. 21Yusufu n'asengula abantu, n'abassa mu bibuga, n'abafuula abaddu, okuva ku nsalo ya Misiri emu, okutuuka ku ndala. 22Ettaka lya bakabona lyokka ly'ataagula kubanga bakabona baali balina omugabo gwabwe gwe baaweebwanga Falaawo, ne balyanga ku mugabo gwabwe Falaawo gwe yabawanga; kye baava balema okutunda ettaka lyabwe.#Ez 7:22 23Yusufu n'agamba abantu nti, “Ngulidde Falaawo ettaka lyammwe, nammwe ne mbaguliramu. Kale ensigo ziizo, ze munaasiga mu nnimiro zammwe. 24Bwe munaakungulanga, munaawanga Falaawo ekitundu ekyokutaano, n'ebitundu ebina bye binaabanga ebyammwe, eby'okusiga mu nnimiro n'okulya, mmwe n'ab'omu nnyumba zammwe.” 25Ne boogera nti, “Otuwonyezza okufa; kati tuli baddu ba Falaawo.”#Lub 33:15 26Yusufu n'ateeka etteeka eryo mu nsi y'e Misiri erikyaliwo ne leero; Falaawo okuweebwanga ekitundu ekyokutaano, naye ettaka lya bakabona lyokka lyeritaafuuka lya Falaawo.#Lub 47:22
Yakobo alaama
27Isiraeri n'abaana be ne batuula mu nsi ey'e Goseni, ne bagaggawala, ne bazaala abaana ne baala.#Lub 26:4, Kuv 1:7, Zab 105:24, Bik 7:17
28Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu (17) ng'asenze mu nsi ey'e Misiri; emyaka gyonna Yakobo gye yawaangala gyali kikumi mu ana mu musanvu (147). 29Awo Isiraeri bwe yali ng'anaatera okufa n'ayita omwana we Yusufu, n'amugamba nti, “Nkwegayiridde kkiriza kaakano, oteeke ekibatu kyo wansi w'ekisambi kyange ondayirire nti tolinziika mu Misiri.#Lub 24:2,49; 50:25 30Bwe mba nga nfudde onzigyanga mu Misiri n'onziika ku butaka bwa bajjajjange.” Yusufu n'addamu nti, “Ndikola nga bw'oyogedde.”#Lub 49:29,30, Bik 7:16 31Yakobo n'amugamba nti, “Ndayirira.” N'amulayirira. Isiraeri n'avuunama emitwetwe n'asinza.#Lub 48:2, 1 Bassek 1:47, Beb 11:21
Currently Selected:
Olubereberye 47: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.