Okuva 1
1
Abaana ba Isiraeri mu Misiri
(1:1—18:27)
Abaana ba Isiraeri bafuuka abaddu mu Misiri (1:1—2:25)
1Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaayingira mu Misiri ne Yakobo n'ab'omu nnyumba zaabwe.#Lub 35:23-26 2Lewubeeni, Simyoni, Leevi ne Yuda; 3Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini; 4Ddaani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri. 5Abantu bonna ab'ezzadde lya Yakobo, baali nsanvu (70). Naye ye Yusufu yali yabeera dda mu Misiri.#Lub 46:27, Ma 10:22 6Yusufu, ne baganda be bonna, n'ab'omu mulembe ogwo gwonna ne bafa.#Lub 50:26, Bik 7:15 7Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera obungi, ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula mu nsi yonna ey'e Misiri.#Lub 46:3, Ma 26:5, Bik 7:17
8Awo kabaka omuggya ataamanya Yusufu, n'alya obwakabaka.#Bik 7:18, Bik 7:19 9N'agamba abantu be nti, “Mulabe, abaana ba Isiraeri bangi nnyo, era ba maanyi okutusinga;#Zab 105:24 10kale tubasalire amagezi, baleme okweyongera obungi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe okutulwanyisa era n'okututolokako.”#Zab 83:3,4; 105:25, Bik 7:19 11Kyebaava babateekako ababakozesa okubabonyaabonya n'emirimu emizibu ennyo. Ne bazimbira Falaawo Pisomu ne Lamusesi, okuba ebibuga eby'amaterekero.#Lub 15:13; 47:11, Kuv 2:11; 5:4,5; 6:6,7, Ma 26:6, Zab 81:6 12Naye Abamisiri gye baakoma okubonyaabonya abaana ba Isiraeri, n'abaana ba Isiraeri gye baakoma okweyongera obungi n'okubuna mu nsi eyo. Abamisiri ne banakuwala nnyo olw'abaana ba Isiraeri;#Kubal 22:3 13ne babatuntuza nnyo n'emirimu egy'amaanyi, 14ne bakaluubiriza obulamu bwabwe n'emirimu emizibu, egy'okubumba amatoffaali, n'okukolanga n'amaanyi mu nsuku ne mu nnimiro zaabwe nga tebabasaasira.#Kuv 2:23; 6:9, Kubal 20:15, Bik 7:19
15Awo Kabaka w'e Misiri n'agamba Sifira ne Puwa, abaazaalisanga Abaebbulaniya nti,#Nge 16:6, Dan 6:13, Bik 5:29 16“Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng'omwana wa bulenzi, mumuttanga, naye bw'abanga ow'obuwala, mumulekanga n'aba mulamu.” 17Naye abazaalisa ne batya Katonda, ne batakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, ne baleka abaana ab'obulenzi nga balamu. 18Kabaka w'e Misiri n'ayita abazaalisa abo, n'abagamba nti, “Lwaki mukola bwe mutyo, okuleka abaana ab'obulenzi nga balamu?”
19Abazaalisa ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga bo b'amaanyi, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga baamaze dda okuzaala.” 20Katonda n'awa abazaalisa abo omukisa; abaana ba Isiraeri ne beeyongera obungi, ne baba baamaanyi nnyo.#Mub 8:12, Is 3:10 21Olw'okubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana.#1 Sam 2:35, 2 Sam 7:11,27, 1 Bassek 2:24; 11:38 22Falaawo n'alagira abantu be bonna, n'abagamba nti, “Buli mwana ow'obulenzi alizaalibwa Omwebbulaniya mumusuulanga mu mugga, naye buli mwana ow'obuwala mumulekanga n'aba mulamu.”#Bik 7:19
Currently Selected:
Okuva 1: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.