YouVersion Logo
Search Icon

Okuva Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kino kiyitibwa, Okuva, kubanga kitegeeza okununulibwa kw'abaana ba Isiraeri okuva mu buddu mu Musiri okugenda mu nsi ensuubize e Kanani. Katonda yaggya abaana ba Isiraeri mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi nga akozesa omuddu we Musa. Ekitabo kino kiyinza okugabanyizibwamu ebitundu ebikulu bibiri: Essuula 1—18: abaana ba Isiraeri mu buddu, okununulibwa kwabwe, n'okutambula kwabwe okuva e Misiri okutuuka ku lusozi Sinaayi. Essuula 19—40: abaana ba Isiraeri nga bakuŋŋaanidde ku lusozi Sinaayi baweebwa amateeka n'ebiragiro eby'okufuga obulamu bwabwe ng'eggwanga ettukuvu erya Katonda.
Ebiri mu kitabo
I. Abaana ba Isiraeri mu Misiri (1:1—18:27).
A. Abaana Isiraeri bafuuka abaddu mu Misiri (1:1—2:25).
B. Katonda atuma Musa e Misiri (3:1—4:31).
C. Musa ne Alooni mu maaso ga Falaawo (5:1—7:7).
D. Ebibonyoobonyo n'okuva mu Misiri (7:8—15:21).
E. Olugendo okutuuka ku Sinaayi (15:22—18:27).
II. Abaana ba Isiraeri bafuuka eggwanga lya Katonda ku Sinaayi (19:1—40:38).
A. Katonda ayogera ne Musa ku lusozi Sinaayi (19:1-25).
B. Amateeka ekkumi n'ebiragiro (20:1—23:33).
C. Katonda akola Endagaano n'abaana ba Isiraeri (24:1-18).
D. Ebiragiro ku weema ey'okusisinkanirangamu (25:1—31:17).
E. Musa afuna ebipande ebya Amateeka (31:18).
F. Endagaano emenyebwa, okwegayirira n'okugiza obuggya Endagaano (32:1—34:35).
G. Eweema ey'okusisinkanirangamu (35:1—40:38).

Currently Selected:

Okuva Ennyanjula: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in