Omubuulizi 1
1
Okwanjula
(1:1-3)
1Ebigambo eby'Omubuulizi, mutabani wa Dawudi, kabaka mu Yerusaalemi.
2Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu.#Yob 7:16, Zab 39:5; 144:4, Bar 8:20 3Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw'akola wansi w'enjuba?#Mub 3:9
Obulamu obutalimu
(1:4—2:26)
4Emirembe emirala gigenda, n'emirembe emirala ne gijja; naye ensi ebeerera awo ennaku zonna.#Zab 119:90 5Enjuba evaayo, era n'egwa, ate n'eyanguwa okugenda mu kifo kyayo gy'eva.#Zab 19:4-6 6Empewo ekunta ng'edda e bukiikaddyo, ate n'ekyukira e bukiikakkono; ekyukakyuka buli kaseera mu kutambula kwayo, empewo n'edda nate mu kwetooloola kwayo.#Mub 11:5, Yok 3:8 7Emigga gyonna giyiwa mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigiyiwa era eyo gye gyongera okuyiwa. 8Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu bwatayinza kwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n'okutu tekukkuta okuwulira.#Nge 27:20 9Ekyaliwo kye kinaabangawo; n'ekyo ekyakolebwa kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w'enjuba.#Mub 3:15 10Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti, “ Laba! Kino kiggya?” Kyamala dda okubaawo mu mirembe egyatusooka. 11Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvannyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo.#Mub 2:16; 9:5
Ebyatuuka ku Mubuulizi
12Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isiraeri mu Yerusaalemi. 13Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n'okukenneenya olw'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu; bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b'abantu okubaluma.#Lub 3:19, Mub 3:10 14Nnalaba emirimu gyonna egikolebwa wansi w'enjuba; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.#Mub 2:11; 4:4 15Ekikyamye tekiyinzika kuluŋŋamizibwa, n'ekyo ekitatuuka tekibalika.#Mub 7:13 16Nnateesa n'omutima gwange nze nga njogera nti, “Laba, nneefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi; weewaawo, omutima gwange gwafuna nnyo amagezi n'okumanya.”#1 Bassek 3:12, Mub 2:9 17Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru; nnalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo.#Mub 2:12; 7:25 18Kubanga mu magezi amangi mulimu obuyinike bungi; n'oyo ayongera okumanya ayongera okulaba ennaku.
Currently Selected:
Omubuulizi 1: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.