1
Omubuulizi 8:15
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w'enjuba wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga; kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bw'amuwadde wansi w'enjuba.
Compare
Explore Omubuulizi 8:15
2
Omubuulizi 8:12
Alina ebibi newakubadde ng'akola obubi emirundi kikumi (100) n'awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng'abo abatya Katonda, banaabanga bulungi, abatya mu maaso ge
Explore Omubuulizi 8:12
3
Omubuulizi 8:6
Kubanga buli kigambo ky'oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw'omuntu bumuzitoowerera nnyo.
Explore Omubuulizi 8:6
4
Omubuulizi 8:8
Tewali muntu alina obuyinza ku mwoyo okuziyiza omwoyo; so talina buyinza ku lunaku olw'okufiiramu; so mu ntalo ezo temuli kusindikibwa, so n'obubi tebulimuwonya oyo abugoberera.
Explore Omubuulizi 8:8
5
Omubuulizi 8:11
Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw'abaana b'abantu gweyongerera ddala mu bo okukola obubi.
Explore Omubuulizi 8:11
6
Omubuulizi 8:14
Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'ababi; naye era waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'abatuukirivu. Ne njogera nti n'ekyo butaliimu.
Explore Omubuulizi 8:14
7
Omubuulizi 8:7
Kubanga tamanyi ekiribaawo, kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba?
Explore Omubuulizi 8:7