Omubuulizi 12
12
1Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti, “Sigisanyukira n'akamu.”#2 Sam 19:35 2Enjuba n'omusana n'omwezi n'emmunyeenye nga tebinnazikizibwa, ebire ne bikomawo enkuba ng'emaze okutonnya. 3Ku lunaku abakuumi b'ennyumba kwe balikankanira, abasajja ab'amaanyi ne bakutama, n'abo abasa ne balekayo kubanga batono, n'abo abalingiza mu madirisa ne bazikizibwa,#Lub 27:1 4enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery'okusa nga likkakkanye, ne wabaawo ayimuka olw'okukaaba kw'ennyonyi, n'abawala bonna ab'okuyimba bwe balikkakkanyizibwa.#Zab 141:3, Mub 2:8, Yer 25:10, Mi 7:5 5Weewaawo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n'omulozi gulimulisa, n'ejjanzi lirizitowa, ne ppirippiri aliggwaawo; kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey'olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo.#Yob 17:13, Nge 26:13, Yer 9:17 6Omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi, ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba;#Zek 4:2,3 7enfuufu n'edda mu ttaka nga bwe yali, omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba.#Lub 2:7; 3:19, Yob 34:15, Mub 3:20,21, Zek 12:1 8Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; byonna butaliimu.#Mub 1:2
Okufundikira
(12:9-14)
9Era nate kubanga Omubuulizi yalina amagezi, ne yeeyongera okuyigiriza abantu okumanya; weewaawo, yafumiitirizanga n'anoonya n'aliraanya engero nnyingi.#1 Bassek 4:32, Nge 1:1 10Omubuulizi yanoonya okulaba ebigambo ebikkirizibwa, n'ebyo ebyawandiikibwa n'obugolokofu, bye bigambo eby'amazima.
11Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋŋaaniro biri ng'enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu.#Is 22:23 12Era nate, mwana wange, labuka, okuwandiika ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n'okuyiga ennyo kukooya omubiri. 13Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa, otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.#Ma 10:12,13 14Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi.#Mub 3:17; 11:9, Mat 12:36
Currently Selected:
Omubuulizi 12: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.