Oluyimba Ennyanjula
Ennyanjula
Ekitabo ky'Oluyimba Olusinga Ennyimba, kirimu ennyimba oba ebitontome ebikwata ku kwagala. Omusajja ayimbira omukazi, n'omukazi n'ayimbira omusajja, nga buli omu ayogera ku kwagala kw'alina eri omulala. Oluyimba lunnyonnyolwa mu ngeri ez'enjawulo mu bitabo eby'enjawulo. Awamu lw'ogerwako ng'omuzannyo ogukwata ku mukwano, awalala ng'omukazi eyali atwaliddwa mu lubiri lwa kabaka Sulemaani, naye n'asigala nga alina omukwano n'omusajja w'omu kibuga gyeyagyibwa, ate oluvannyuma ne baddamu ne basisinkana. Abalala balowooza nti omusajja ono ye Sulemaani yennyini. Oluyimba luno, Abayudaaya baalulabangamu ekifaananyi ekiraga enkolagana wakati wa Katonda n'abantu be. Ekitabo kino kyawandiikibwa awo nga obufuzi bwa Sulemaani bwakatandiika.
Ebiri mu kitabo
I. Oluyimba olusooka (1:1—2:7).
II. Oluyimba olwokubiri (2:8—3:5).
III. Oluyimba olwokusatu (3:6—5:1).
IV. Oluyimba olwokuna (5:2—6:3).
V. Oluyimba olwokutaano (6:4—8:4).
VI. Oluyimba olwomukaaga (8:5-14).
Currently Selected:
Oluyimba Ennyanjula: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.