1
Omubuulizi 12:13
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa, otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.
Compare
Explore Omubuulizi 12:13
2
Omubuulizi 12:14
Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi.
Explore Omubuulizi 12:14
3
Omubuulizi 12:1-2
Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti, “Sigisanyukira n'akamu.” Enjuba n'omusana n'omwezi n'emmunyeenye nga tebinnazikizibwa, ebire ne bikomawo enkuba ng'emaze okutonnya.
Explore Omubuulizi 12:1-2
4
Omubuulizi 12:6-7
Omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi, ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba; enfuufu n'edda mu ttaka nga bwe yali, omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba.
Explore Omubuulizi 12:6-7
5
Omubuulizi 12:8
Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; byonna butaliimu.
Explore Omubuulizi 12:8