1
Omubuulizi 1:18
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Kubanga mu magezi amangi mulimu obuyinike bungi; n'oyo ayongera okumanya ayongera okulaba ennaku.
Compare
Explore Omubuulizi 1:18
2
Omubuulizi 1:9
Ekyaliwo kye kinaabangawo; n'ekyo ekyakolebwa kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w'enjuba.
Explore Omubuulizi 1:9
3
Omubuulizi 1:8
Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu bwatayinza kwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n'okutu tekukkuta okuwulira.
Explore Omubuulizi 1:8
4
Omubuulizi 1:2-3
Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu. Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw'akola wansi w'enjuba?
Explore Omubuulizi 1:2-3
5
Omubuulizi 1:14
Nnalaba emirimu gyonna egikolebwa wansi w'enjuba; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
Explore Omubuulizi 1:14
6
Omubuulizi 1:4
Emirembe emirala gigenda, n'emirembe emirala ne gijja; naye ensi ebeerera awo ennaku zonna.
Explore Omubuulizi 1:4
7
Omubuulizi 1:11
Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvannyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo.
Explore Omubuulizi 1:11
8
Omubuulizi 1:17
Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru; nnalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo.
Explore Omubuulizi 1:17