Ekyamateeka Olwokubiri 22
22
1“Bw'olabanga ente oba endiga ya munno nga ebula, togirekanga, ogizzangayo eri nnyiniyo.#Kuv 23:4 2Naye munno bw'abanga tali kumpi, oba nnyiniyo nga tomumanyi, ogitwalanga ewuwo, okutuusa nnyiniyo lw'aliginoonya n'ogimuwa. Era muganda wo bw'aba nga takuli kumpi oba bw'oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo, eneebeeranga naawe okutuusa muganda wo lw'aliginoonya, n'ogizza nate gy'ali. 3Era onookolanga bw'otyo ne ku ndogoyi ye, ne ku kyambalo kye, ne ku kintu ekirala kyonna ekinaabulanga n'okironda; si kirungi kukikweeka.”
4“Bw'olabanga endogoyi ya munno oba ente ye nga egudde ku kkubo, togiyitangako; oyambanga n'ogiyimusa.”#Kuv 23:5
5“Omukazi tayambalanga kya kyambalo kyamusajja, so n'omusajja tayambalanga kyambalo kya mukazi; kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama Katonda wammwe.”
6“Bw'osanganga ekisu ky'ennyonyi ku muti oba mu kkubo; nga kirimu amagi, oba obwana, nga nnyina waabwo amaamidde ku magi oba atudde ku bwana, totwalanga nnyina waabwo awamu n'amagi.#Leev 22:28 7Oyinza okutwala obwana, nnyina waabwo n'omuta; olyoke olabenga ebirungi, era owangaalenga ennaku nnyingi.”#Ma 4:40
8“Bw'ozimbanga ennyumba ey'akasolya akaagaagavu, okatekangako omuziziko; omuntu yenna aleme okuvaako okugwa, n'obaako omusango ogw'obussi. 9Toosimbenga kirime kirala mu nnimiro yo ey'emizabbibu, olemenga kufiirwa bibala byonna: eby'ekirime kye wasimbamu, n'ebibala eby'emizabbibu, kubanga byonna bya Mukama.”#Leev 19:19
10Tolimisanga nte n'endogoyi ku kikoligo ekimu 11“Toyambalenga lugoye lulukiddwa nga batobeka ewuzi ez'ebyoya, n'ez'ekika ekirala.”
12“Onootunganga ebijwenge ku nsonda ennya ez'ekyambalo kyo ky'oyambala.”#Kubal 15:38, Mat 23:5
Amateeka ku basajja n'abakazi
13“Omusajja yenna bw'awasanga omukazi, ne yeegatta naye, ate oluvannyuma n'amukyawa,#2 Sam 13:15 14n'amuwawaabira ng'amwogerako eby'ensonyi, n'ayonoona erinnya lye ng'agamba nti, ‘N'awasa omukazi ono, wabula n'amusanga si mbeerera,’ 15kitaawe ne nnyina w'omuwala oyo banatwalanga essuuka eyakozesebwa ku buliri, eriko obubonero obw'obutamanya musajja; ne bagireetera abakadde b'ekibuga, mu mulyango awasalirwa emisango, okukakasa nti omuwala yali mbeerera, 16kitaawe w'omuwala n'agamba abakadde nti, ‘Omusajja ono n'amuwa mwana wange okumuwasa, naye amukyaye; 17era, laba, amuwawaabidde eby'ensonyi, ng'agamba nti saalaba mu mwana wo bubonero bwa butamanya musajja; era naye obubonero bw'omwana wange obw'obutamanya musajja buubuno.’ Awo ne banjuluza essuuka mu maaso g'abakadde b'ekibuga. 18Awo abakadde b'ekibuga ekyo ne batwala omusajja oyo ne bamukuba; 19ne bamutanza sekeri eza ffeeza kikumi (100), ne baziwa kitaawe w'omuwala oyo, kubanga omusajja oyo yayonoona erinnya ly'omwana embeerera Omuisiraeri; era anaabanga mukazi wa musajja oyo obutamugobanga ennaku zonna. 20Naye omusajja ky'alumiriza bwe kinaabanga ekituufu, nga tewali bukakafu bulaga nti omuwala yali mbeerera, 21awo banaamutwalanga ku mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe banaamukubanga amayinja ne bamutta, kubanga yakola eby'ensonyi mu Isiraeri, n'ayendera mu nnyumba ya kitaawe; bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi ekyo mu Isiraeri.”#Lub 34:7, Ma 13:5
22“Omusajja bw'anaakwatibwanga nga yeegasse n'omukazi omufumbo, bombi banattibwanga; bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi ekyo mu Isiraeri.”#Leev 20:10, Ez 16:38, Yok 8:5
23“Bwe wabangawo omuwala embeerera ayogerezebwa, omusajja omulala n'amusanga mu kibuga ne yeegatta naye; 24bombi munabatwalanga ku wankaaki w'ekibuga ekyo ne mu bakuba amayinja ne bafa, kubanga omuwala teyakuba nduulu ng'ali mu kibuga; era kubanga n'omusajja ye gatta ne mukazi wa munne; bw'otyo bw'onoggyanga ekibi ekyo wakati mu Isiraeri.”
25“Naye omusajja bw'asanganga omuwala ayogerezebwa mu nnimiro, n'amukaka okwegatta naye; omusajja yekka y'anattibwanga. 26Naye omuwala temumukolangako kabi konna, kubanga anaabanga talina kibi kimusaanyiza kuttibwa; kino kifaanana n'omuntu afubutukira munne n'amutta. 27Kubanga omuwala oyo ayogerezebwa, yasangibwa mu nnimiro, n'akuba enduulu, ne watabaawo amudduukirira.”
28“Omusajja bw'anaagwikirizanga omuwala embeerera atayogerezebwa, n'amukwata, ne yeegatta naye, ne babalaba;#Kuv 22:16 29kale omusajja oyo, anaawanga kitaawe sekeri eza ffeeza ataano (50), olwo n'alyoka afuuka mukazi we, kubanga yeegatta naye, era tamugobanga ennaku zonna ez'obulamu bwe.”
30Omusajja teyegattanga na muka kitaawe, aleme okuswaza kitaawe.
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 22: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.