Ekyamateeka Olwokubiri 21
21
Ebikwata ku batemu abatamanyiddwa
1“Mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu, omuntu bw'anaasangibwanga mu nsiko ng'attiddwa naye amusse nga tategeerekese; 2abakadde n'abalamuzi bammwe banaagendanga ne bapima ebbanga, okuva ku mulambo okutuuka ku buli kimu ku bibuga ebiriraanyeewo. 3Abakulembeze b'ekibuga ekisinga okuba okumpi n'omulambo, banatwalanga ente enduusi, etekozesebwangako mulimu, era etebangako kye walula nga eri ku kikoligo.#Kubal 19:2 4era abakadde b'ekibuga ekyo banaaserengesanga ente eyo enduusi, mu kiwonvu ekitalimwangamu era ekitasigibwangamu, ekirimu amazzi agakulukuta, ne bakutulira omwo ensingo y'ente eyo. 5Ne bakabona ab'omu kika kya Leevi, abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, n'okutawulula abakaayana, n'abalwanaganye, banajjanga ne babawoleza.#Ma 10:8; 17:8,9 6Awo abakadde bonna ab'omu kibuga ekisinga okuba okumpi n'omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo ku nte enduusi ekutuddwako ensingo mu kiwonvu;#Zab 26:6; 73:13 7era banaayogeranga nti, ‘Si ffe twatemula omuntu ono, so n'eyamutemula tetwamulaba.’#2 Sam 3:28 8Kale nno ayi Mukama, sonyiwa abantu bo Isiraeri, bewanunula, so tobassaako musango olw'omuntu eyattirwa obwereere. Kale omusango gunaabagibwangako.#Yer 26:15, Yon 1:14 9Bwe munaakolanga bwe mutyo, nga Mukama bw'alagira, bwe muneggyangako omusango oguli mu mmwe.”#Ma 19:13
Eby'abakazi abanyagiddwa mu ntalo
10“Bwe munaalwananga n'abalabe bammwe, Mukama Katonda wammwe, n'abawa ne mubawangula, ne munyaga abakazi; 11mu banyagiddwa, n'olabamu omukazi omulungi n'omwegomba okumuwasa; 12on'omutwalanga mu nnyumba yo, n'amwebwako enviiri, n'asala n'enjala ze; 13era anaayambulangamu ebyambalo eby'obunyage, n'abeera mu nnyumba yo okumala omwezi mulamba ng'akabira kitaawe ne nnyina; kale oluvannyuma onegattanga naye n'aba mukazi wo. 14Awo bw'ataganjenga mu maaso go, onoomulekanga n'agenda gy'ayagala; naye tomutundangamu bintu, so tomuyisanga nga omuzaana, kubanga wegattako naye.”#Ma 24:7
Omugabo gw'omwana omulenzi omubereberye
15“Omusajja bw'abanga n'abakazi babiri, omu nga muganzi okusinga omulala, bombi ne bamuzaalira abaana; kyokka ng'omwana omulenzi omubereberye wa mukazi atali muganzi,#Lub 29:30,33 16omusajja oyo bw'anaatuusanga okulaamira abaana be ebintu by'alina, taafuulenga mwana wa mukazi omuganzi okuba omubereberye, mu kifo ky'omwana omulenzi omubereberye omutuufu, eyazaalibwa omukazi atali muganzi,#2 Byom 11:19-22 17naye anakkirizanga omwana omulenzi omubereberye, ow'omukazi atali muganzi, n'amuwa emigabo ebiri ku byonna by'alina; kubanga oyo ye yasooka okuva mu maanyi ge, eby'omubereberye byonna bibye.”#Lub 25:31,33; 49:3
Omwana omulenzi omujeemu
18“Omuntu bw'abanga ne mutabani we omukakanyavu era omujeemu, nga tagondera kitaawe ne nnyina, era nga tawulira ne bwe bamubonereza; 19kale kitaawe ne nnyina banaamukwatanga, ne bamutwala eri abakadde ab'omukibuga ku wankaaki; 20ne bamuloopa eri abakadde ab'omukibuga nti, ‘Omwana waffe ono mukakanyavu era mujeemu, tawulira, wa mpisa mbi era mutamiivu.’ 21Awo abasajja bonna ab'omu kibuga kyabwe banaamukubanga amayinja ne bamutta; bw'otyo bw'onoggyangawo obubi wakati mu mmwe; kale Isiraeri yenna anaawuliranga era anaatyanga.”#Ma 13:5,10,11
Amateeka ku bintu ebitali bimu
22“Omuntu bw'anaakolanga ekibi ekisaanira okumussa, ne bamutta, ne bamuwanika ku muti; 23omulambo gwe tegusulanga ku muti, naye mumuziikirangawo ku lunaku olwo; kubanga awanikiddwa, aleme okuleeta ekikolimo ku nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka.”#Kubal 35:34, Yos 8:29, Yok 19:31, Bag 3:13
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 21: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.